TOP
  • Home
  • Amawulire
  • By'olina okukozesa okukendeeza omujjuzo mu nnyumba

By'olina okukozesa okukendeeza omujjuzo mu nnyumba

By Kizito Musoke

Added 7th November 2019

ABANTU gye bakomye okweyongera obungi, n’ebifo ebigazi eby’okuzimbamu tebikyagulika era kati obubudamu busigalidde mu kuyiiya engeri y’okubeera mu kifo ekifunda nga tonyigirizibwa nnyo n’ab’omu maka go. Amaka mangi bwogayingiramu weesanga tebalina wadde ekifo w’osobola okutuula wansi olw’ebintu ebingi ebibeera biteekeddwa mu kifo kyonna. Okugeza ttivvi, leediyo, endabirwamu, emmeeza, entebe ne kabada bisobola okujjuza eddiiro lyonna nga n’okuyitamu okutuuka mu kisenge ogenda weewaganya.

Buildsave3aaa 703x422

Sinki eriko n'akatandaalo

 
ABANTU gye bakomye okweyongera obungi, n’ebifo ebigazi eby’okuzimbamu tebikyagulika era kati obubudamu busigalidde mu kuyiiya engeri y’okubeera mu kifo ekifunda nga tonyigirizibwa nnyo n’ab’omu maka go. 
 
Amaka mangi bwogayingiramu weesanga tebalina wadde ekifo w’osobola okutuula wansi olw’ebintu ebingi ebibeera biteekeddwa mu kifo kyonna. Okugeza ttivvi, leediyo, endabirwamu, emmeeza, entebe ne kabada bisobola okujjuza eddiiro lyonna nga n’okuyitamu okutuuka mu kisenge ogenda weewaganya. 
 
Okwewala omujjuzo gw’ebintu mu nnyumba, abantu batandise okuyiiya ebintu bye bakozesa okukuba ebinnyonyi bibiri n’oluusi okusukkawo n’ejjinja limu. 
 
Okukekkereza kutandika ozimba
Ying. Vincent Katende owa Treasure Invests, Consultants and Contractors agamba nti azimba osobola okukekkereza ekifo nga tannaba kuzimba. Bw’otuukirira omukubi wa pulaani, kakasa nti akuteeramu ebintu byokka bye weetaaga okusinga bye walaba oba bye weegomba.
 
KOZESA EBINTU 
EBIKEKKEREZA EKIFO
Olwokuba ng’ekifo tekigaziwa olina okulowooza ku ngeri gyosobola okukozesaamu ebisenge ebikalu awatali kintu ng’oteekawo ebintu eby’omugaso. Abalina ennyumba za kalina ezirimu amadaala munda, kyandibadde kirungi n’okolayo bulungi n’oterekayo ebintu ebyandikutwalidde ekifo awalala. Okugeza oyinza okuteekayo kabada n’oterekamu ebintu, obuntu okubeera engatto oba okuteekawo firiigi. 
 
Bwe kituuka ku bitanda by’abaana, osobola okukozesa ebya kalina ziyite ddeeka. Agandibadde amadaala asula waggulu kw’alinnyira, osobola okukolamu bu sseefu mwe batereka ebintu byabwe nga engoye, ebitabo, obusenya n’ebirala. Bw’aba alina akameeza kwasomera ebitabo, oyinza nako okukateekako sseefu mwatereka kompyuta ate nga n’akatebe osobola okukazingako n’ofuna w’okawanika. 
Ebirala birinde mu Bukedde w'Olwomukaaga ku muko gw'Akeezimbira.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...