TOP

Bayiye kaasi mu kwanjula kwa Julie Angume

By Martin Ndijjo

Added 7th November 2019

Abantu balaze Julie Angume omukwano bwe bajjumbidde olukiiko oluteekateeka omukolo gwe ogw'okwanjula ne bamuwa ne ssente.

Juliessemugga5 703x422

Julie (ow'okubiri ku ddyo) n'abamu ku mikwano gye

Enkiiko ezitegeeka omukolo omuyimbi Julie Angume amanyiddwa nga Julie heartbeat kw'agenda okwanjulira omusajja we omupya Samuel Ssekajugo Musoke nga December 12, 2019 e Kiboga zitandikidde mu ggiya,

Abawagizi bayiise mu lukiiko olusoose ne basonda n’okwetema  ssente  omugatte obukadde30 nga kuzino obukadde 4 zaasondeddwa mu buliwo.

 ulie nomusajja we omupya usoke Julie n'omusajja we omupya Musoke.

Kino Julie kyacamudde nabategezza nga naye bwatagenda kubayiwayo agenda kufumbiraddala awatali kunoba

“Mundaze omukwano naye nange mbasuubiza nti ngenda baagalira Musoke atuuke n’okuyita abewaabwe abagambe nti ddala ono omwana alina laavu.”

 ayima ayogera ne ssa usoke ku ddyo Kayima (ayogera) ne Issa Musoke ku ddyo.

Kuno yagasseko nti “mbakakasa kakike ki oba ki ne bwe wanajja ani sigenda kunooba, Julie maliridde okufumirwa”

Ssentebe w’olukiko olutegeeka omukolo, eyaali omwogezi wa poliisi, Emiliano Kayima yasiimye abantu abeetabye ku mukolo guno n’okusonda ssente bwe yagambye nti Julie mukwano gw’abangi y’ensonga lwaki muzze mu bungi ate temukoma wano mwongere okumuwa ssente n’e Kiboga mumuwereekere.

ulieku kkono ne metulooni we anate irungiJulie(ku kkono) ne metulooni we Janate Kirungi

Ye Hajji Issa Musoke eyabadde ayamba ku Kayima yeebazizza Julie olw’ougumikiriza bw’alaze okutuusa nate bwafunye essanyu.

 ueen florence wakati ne aridah dausi ku ddyo Queen florence (wakati) ne Faridah Ndausi ku ddyo
 ulie ne imon irembewakati Julie ne Simon Mirembe(wakati)
 meria ambalaku ddyo ne muganda we Ameria Nambala(ku ddyo) ne muganda we.
 bano nga babala ssente bano nga babala ssente.
ne bano babaddeyone bano babaddeyo

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...