TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyeeyise omusika wa Bujagaali bamututte talinnya

Eyeeyise omusika wa Bujagaali bamututte talinnya

By Donald Kiirya

Added 7th November 2019

OMUSAJJA asibye Abasoga ‘ekiwaani’ bw’agenze mu biyiriro n’alangirirwa nti ye musika wa Bujagali.

Pika 703x422

OMUSAJJA asibye Abasoga
‘ekiwaani’ bw’agenze
mu biyiriro n’alangirirwa
nti ye musika wa Bujagali.
Abaswezi(abasamize)
abaabadde mu lumbe lwa
Bujagali baagenze kipayoppayo
awali omusajja ono
olwo eηηoma ne zitandika
okusindogoma okwaniriza
omusika wa Bujagali eyabadde
alinnyiddwa kye
baayise emmandwa.
Yategeerekese nga ye Hassan
Yiga. Yabadde tayambadde
ssaati ng’ali ku kizinga
mu mugga Kiira (Kiyira)
awakuηηaanira emizimu
n’emmandwa ebya Bujagali.
Abaswezi baakubye
eηηoma n’emikolo egyaniriza
empewo za Bujagali. Kyokka
‘omusika’ yabadde tayogera
wadde okwanukula obubonero
bwabwe obwakoleddwa
okukakasa nga ye Bujagali
omupya omutuufu.
Bwe baamuzudde nga
“asiba kiwaani”, kwe kulagira
poliisi eyabadde ebakuuma,
okumukwata.
Kyategeerekese
nti yavudde
Buyende
ng’aliko
omusambwa
Kasooto
ogukuuma olusozi Kasooto
okumpi n’omwalo gw’e Bukungu.
Yatwaliddwa ku poliisi
ku kitebe ky’eggombolola
Budondo.
Ssentebe w’e Budhagali,
Haruna Kapampa yategeezezza
nti bwe baalabye omusajja
mu kifo ekyo awaateranga
okutuula Bujagali, kwe kuyita
Abaswezi. Bonna baasoose
kulowooza nti omusajja ye
musika wa Bujagali kubanga
akazinga we yabadde tewali
muntu agendawo okuggyako
Bujagali.
Bujagali yafa wiiki ewedde
n’aziikibwa ku Ssande mu
ttumbi nga bwe yalaama. Entaana
mwe yaziikiddwa yaseeteezeddwa.
Omulambo gwe
gwakoleddwaako obulombolombo
nga bwe yalaama.
Omu ku bataka yategeezezza
nti ekyabazibudde amaaso
nga Yiga ‘asiba kiwaani’ kwe
kumulagira okuva ku kizinga
naye n’avaayo. “Aliko empewo
za Bujagali tosobola kumuggyayo
n’omulagira kulinnya
lyato naye n’alirinnya”, bwe
yagambye.
Abaswezi era batangaazizza
ku bigambibwa nti Katikkiro
wa Bujagali, Waiswa
Muyiri mulwadde
muyi oluvannyuma
lw’okulumbibwa empewo nga
kigambibwa nti aliko emikolo
gy’ebyobuwangwa gye yasobezza.
Baagambye nti kituufu
mulwadde kyokka yalwadde
ng’omuntu omulala yenna
naddala olw’okukoowa ennyo
olw’ebbanga lya wiiki
ennamba ey’okukungubagira
Bujagali gy’amaze ng’akola
emisana n’ekiro.
Era bawakanyizza ebigambibwa
nti baagobye
nnamwandu wa Bujagali
awaka.Omukulu w’ekika kino,
Misango yategeezezza nti
tewali ayinza kugoba nnamwandu
kubanga emisambwa
gye gyamuleeta era gye girina
okumuggyawo.
Kyokka yagambye nti
oluvannyuma lw’okuziika
baatuuzizza olukiiko lw’ekika
okwogera ku bugagga
bw’omugenzi n’abasika
ababiri Owenkoba (avunaanyizibwa
ku byobuwangwa)
n’anaasikira obugagga
n’omusaayi. Kyokka nnamwandu
Masitula Lukowe
Kyonaza yagaanyi okwetaba
mu lukiiko ekintu ekyatunyiizizza.
Ensonda
zaategeezezza nti
nnamwandu
Kawabutwa
75, bamulagidde
okulaga
obugagga
bwa bba
okuli ssente
enkalu, kkaadi
y’emmotoka
n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...