TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ensonga lwaki omusama Wajjala tagenda kukola kabaga mwaka guno.

Ensonga lwaki omusama Wajjala tagenda kukola kabaga mwaka guno.

By Martin Ndijjo

Added 7th November 2019

Omusama Joseph Wajjala owa 'One million dollar party' ayogedde ensonga lwaki tagenda kukola kabaga mwaka guno.

Wajjala2 703x422

Wajjala n'ebyana ku kabaga k'omwaka oguwedde

Gwe eyeesunga obubaga bw’abasama abanateera okuyingirawo okujooga mu gandaalo lya Ssekukkulu,

Mu ppate z'obala okulya eya Joseph Wajjala owa ‘One million dollar party’ giggyemu.

Okusinzira ku maneja we Bbosa Gonzaga agamba mukama we mu kiseera kino ali e Denmark gy’akolera omwaka guno tagenda kusobola kujja mu ggwanga mu December nga bwabadde ateera okukola  okujja okucakaza bannakampala olw’obuvunanyizibwa n’emirimu emingi egimulindiridde mu kiseera ekyo.

 bosa ku ddyo nga ayogera Bbosa ku ddyo ng'ayogera.

Bbosa ategezezza bannamawulire olunaku lwa leero mu lukung’aana lwatuzizza ku Pearl of Africa hotel nti mukama we (Wajjala) ku hotel wakolera balina enteekateeka ey’enjawulo ekoleddwa okulaba nga basigalayo mu biseera bya Ssekukkulu olwa  bakasitoma abangi abamaze okupangisa woteeri eno.

Wabula agumiza abawagizi be nti omwaka ogujja (2020) bagenda kuddamu okutegeka ppate era okuvaayo bwebati bakikoze okulaba nga tebafaanana n'abasama abamu abajja mu ggwanga ne bajooga ate mu banga tono ne babula obutaddamu kulabika.

Akabaga Wajjala ke yategeka mu club Guvnor omwaka oguwedde ke kasinga okujjumbirwa n’okucamula abadigize ekitegezza nti ono guno omwaka bagenda kumusubwa nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...