TOP

Ab’e Lusanja bakyatabuddwa: Tebamanyi kiddako

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

ENNAKU 30 ezaaweebwa omugagga Kiconco okusengula abatuuze b’e Lusanja ku ttaka kwe bali, oluvannyuma lw’okuwangula omusango gwe yabawawaabira ogw’okulyesenzaako ziweddeko. Naye balooya baabwe balayidde obutamukkiriza kubasengula.

Pata 703x422

Looya Abdallah Kiwanuka (wakati mu biddugavu) nga ayogerako eri abatuuze b’e Lusanja .

Bya EDWARD LUYIMBAAZI ne ROSEMARY NAKALIRI

Omusango guno gwasalibwa Omulamuzi Tadeo Asiimwe nga October 4, 2019 bwe yalagira abantu 147 abaali bawakanya Medard Kiconco okubagoba ku ttaka e Lusanja okulyamuka mu nnaku 30 n’ategeeza nti eyabaguza ebibanja ebyo teyalina buyinza era baabuzibwabuzibwa.

Nalukoola Luyimbaazi omu ku balooya b’abatuuze bano yagambye nti newankubade kkooti yawa Kiconco obuyinza ku ttaka lino naye tebajja kumukkiriza kusengula batuuze kubanga baajulira nga bawakanya ebyasalibwawo Omulamuzi Asiimwe.

Luyimbaazi yagambye nti baamanyisa kkooti nga bwe baali abeetegefu okujulira mu musango guno era ne bagisaba ebawe ensala y’Omulamuzi ne byonna ebyagenda mu maaso mu kkooti nga bawulira omusango guno bibayambeko okubaga ensonga zaabwe ze banaasinzirako okujulira.

Okuva lwe baatekaayo okusaba kwabwe, Luyimbaazi agamba nti kkooti tebawanga bintu bino kyokka nga bo beetegefu okutekaayo okujulira kwabwe kubanga byonna Omulamuzi Asiimwe bye yasinziirako okugemulira Kiconco ettaka lino tebabikkiriza omuli n’okubasengula.

Yagambye nti Kiconco bw’aba agenda okusengula abatuuze b’e Lusanja alina okusooka okugenda mu kkooti essa mu nkola ebibeeera bisaliddwaawo kkooti endala kyokka essaawa eno tannaba kuteekayo kusaba kwe.

Luyimbaazi yategeezezza nti singa Kiconco kamutanda n’atwalayo okusaba kuno, nabo bajja kutegeeza kkooti nga bwe baatekaayo okumanyisa kwabwe eri kkooti ejulirwamu nga bagitegeeza nga bwe bali abeetegefu okujulira kyokka nga bye baasaba tebannaba kubibawa.

Wabula Kiconco bw’abuuziddwa ku nsonga zino yagambye nti waliwo ebbaluwa za kkooti ze yafuna ng’abatuuze bano beegaana nti tebalagirangako balooya bano kujulira ku musango guno era nga ne bbaluwa zino baazitwala mu ofiisi ya Pulezidenti.

Yagambye nti ab’omu maka ga Pulezidenti baamuyita ku nsonga z’ettaka lino oluvannyuma lwa kkooti okusala omusango.

Kiconco yagambye nti yagenda mu kkooti essa mu nkola ebiragiro bya kkooti endala ng’ayagala okusengula abatuuze naye tebannaba kumuwa lukusa.

N’agamba nti yagenda mu kkooti ejulirwamu n’atasangayo kujulira kwonna balooya kwe bassaayo.

Mu kiseera kino Kiconco agamba takyasobola kuteesa n’abatuuze ku nsonga mpozzi nga gavumenti yenaabayamba era yeetaaga ssente zonna ze yayonoonera mu kkooti ng’abawawaabidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...