TOP

Amagye gaweze obutava Makerere

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

MINISITA avunaanyizibwa ku byokwerinda, Adolf Mwesige ategeezezza nti, amagye ga UPDF tegagenda kuva ku yunivasite y’e Makerere kuba wakyaliyo obwetaavu.

Risk 703x422

Nalukwago (ku kkono ) ne Kateregga ne Opolot nga bali mu kakiiko k’ebyenjigiriza.

 
Bya KIZITO MUSOKE NE IVAN MPONYE
 
Yasinzidde mu kakiiko ka Palamenti akebyenjigiriza akaakubiriziddwa omumyuka wa ssentebe (John Twesigye/Bunyaruguru).
 
Yategeezezza nti, mu kiseera kino tebasobola kuggyayo magye gonna ku yunivasite kuba wakyaliwo obwetaavu, nga kye bajja okukola kwe kubakendeeza mpola.
Okwenyigira mu kukkakkanya obwegugungo, yagambye nti baamala kuyitibwa poliisi babayambeko okutereeza embeera.
 
Amagye yagambye nti gasangiddwayo e Makerere kuba gaatwalibwayo mu 2018 mu biseera obumenyi bw’amateeka ng’ettemu n’obubbi we byali byefuze ebitundu bya Kampala n’emiriraano.
 
Baalowooza nti, abamenyi b’amateeka basobola okweyambisa akavuyo k’e Makerere okuddamu okutabangula ekibuga.
 
Mario Obiga Kania, minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga yagambye nti abayizi abazze bakwatibwa bazze bayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
 
Yasambazze n’ebyogerwa nti waliwo abayizi abawala abaakabassanyizibwa n’agamba nti tebafunanga muyizi yenna yali aloopye musango ku nsonga eno.
 
Amagye ne poliisi bazze babalumiriza okukozesa amaanyi agasukkiridde nga bakuba abayizi okukira eby’omu nsiko, okukuba omukka ogubalagala mu bisulo by’abayizi mu kaweefube w’okukkakkanya okwekalakaasa okuwakanya eky’okwongeza ebisale n’ebitundu 15 ku buli 100.
 
Embeera eno yawaliriza Pulezidenti Museveni okulagira amagye okuva ku yunivasite. Embeera y’okukkakkanya abayizi yasemba kukolebwa poliisi kuba buno si buvunaanyizibwa bw’amagye.
 
Lt. Gen Wilson Mbadi, amyuka omuduumizi wa UPDF yagambye nti abaserikale abagambibwa okutulugunya abayizi babuulirizibwako kuba mu nkola y’eggye ly’eggwanga tebakkiriza mu bikolwa bya kutulugunya.
 
Ku kwemulugunya kw’okubeera nga bambega abali mu ngoye eza bulijjo bangi ku yunivasite, Mbadi yagambye tekirina buzibu, kyokka ky’alabamu obuzibu kye ky’okubeera nga bakaalakaala n’emmundu.
 
Kino yasuubizza okukinoonyerezaako. Julius Kateregga, akulira abayizi b’e Makerere yategeezezza akakiiko nti abayizi batiisibwatiisibwa abantu abali mu ngoye ezaabulijjo ababeera n’emmundu. Bano balabibwa mu yunivasite n’ebweru waayo ekitadde abayizi ku bunkenke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono