TOP

Gavt. yaakutwala ettaka eritalina kikolerwako

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

KABINEETI ewadde minisita w’ebyettaka, Betty Amongi ekiragiro okubaga enkola enaagobererwa gavumenti okweddiza ettaka eritalina kikolerwako.

Land703422 703x422

Enkola y’emu ejja kubeera ng’ewa gavumenti obuyinza okweddiza ebyapa ebiringa ebyabulako bannannyini byo ebiri mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo naddala e Bunyoro.

Amongi yategeezezza nti, mu bitundu ebimu nga Bunyoro, gavumenti etubidde n’ebyapa by’ettaka ebisoba mu 300 eritaliiko nnannyini lyo wadde omuntu alyogerako.

Okufuba okulaba nti gavumenti efuna ettaka kwe balina okuzimba amakolero, okutandikawo bizinensi ez’enjawulo, okuteekateeka obulungi ebifo abantu kwe balina okusenga nga bifunye pulaani entuufu n’okukendeeza ku nkaayana z’ettaka ng’abantu bafuna ebyapa ku ttaka kwe batudde okwetoloola eggwanga, awo kabineeti we yasinzidde okuwa ekiragiro kino.

Amongi yayongedde okunnyonnyola nti, okuyita mu nkola eyo, gavumenti ejja kusobola okweddiza ettaka eryo mu ngeri y’okuligabako liizi lisobole okukozesebwa naddala mu bitundu eby’ebibuga.

Omumyuka wa Katikkiro wa Uganda asooka, Gen. Moses Ali yategeezezza nti gavumenti ereeta enkyukakyuka eziwerako mu mateeka kubanga emirimu mingi gy’ekola ng’okuzimba enguudo. Eggaali y’omukka n’ebirala byetaaga engeri ennuhhamu ey’okufunamu ettaka.

Kino kyetaagisa enkola eyanguyiza gavumenti okweddiza ettaka ly’omuntu mu wiiki emu yokka emirimu gireme kwesiba.

Wabula Mmengo yalabudde gavumenti ereme kuleeta nkola ku byapa bye bagamba nti tebiriiko babiwondera.

Omwogezi wa Mmengo minisita, Noah Kiyimba yategeezezza New Vision nti eddembe ly’omuntu okubeera n’obwannannyini ku ttaka n’okulikozeseza wabeera ayagalidde lisaana okussaamu ekitiibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...