TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyama bivuddeyo ku bakaayanira ebyobugagga bya Kasiwukira

Ebyama bivuddeyo ku bakaayanira ebyobugagga bya Kasiwukira

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

EBYAMA bivuddeyo ku lutalo lw’ebizimbe n’ettaka ebikaayanirwa mu ffamire y’omugenzi Eria Ssebunya Bugembe (Kasiwukira) omu ku baana bw’atabuse n’asaba bamubuulire engabana n’engeri omu ku bataata be gye yagenda ku kyapa.

Take1 703x422

Ekizimbe ekikaayanirwa.

 mugenzi asiwuukira Omugenzi Kasiwuukira

 

EBYAMA bivuddeyo ku lutalo
lw’ebizimbe n’ettaka ebikaayanirwa
mu ffamire y’omugenzi Eria Ssebunya
Bugembe (Kasiwukira) omu ku baana
bw’atabuse n’asaba bamubuulire engabana
n’engeri omu ku bataata be gye
yagenda ku kyapa.
Omulenzi omukulu Stephen
Herman Kalungi eyaweebwa ekizimbe
kya Nalubwama Arcade y’atabuse
n’aggyayo ebyama nti nga oggyeeko
ekizimbe kya Nalubwama kye babadde
bamututteko naye n’akinunula ayagala
annyonnyolwe engeri ebyobugagga
ebirala gye byagabanibwa .
Ku Lwomukaaga, yafulumizza
ekiwandiiko ekiraga nti kitaawe
Kasiwukira yaleka ebyobugagga bingi
ye byatamanyiiko mayitire ne banne.
Yagambye nti kuliko ensozi
z’amayinja bbiri e Ntungamo, yaleka
ettaka e Muyenga ne Ssekiwunga,
ettaka eddene e Kammengo mu Mpigi
ate n’ensimbi enkalu ku akawunti
ez’enjawulo byonna by’ayagala
annyonnyolwe gyebiri.
Ensimbi n’ebyobugagga by’ayogerako
bibalirirwa mu buwumbi bwa ssente
naye abaana tebamanyi lwaki tebabibawa
era tebamanyi baani ababirimu mu
kiseera kino.
Bino okuvaayo kiddiridde olutalo
lw’ekizimbe kya Nalubwama ekisangibwa
mu poloti 26/ 28 ku luguudo Ben
Kiwanuka mu Kampala okusajjuka.
Kalungi 27, yanyiiga n’akigobamu
kitaawe John Ggayi n’abalala bwe baali
bakola ne Kasiwukira ababadde bakiddukanya.
Alumiriza nti ekizimbe kya
Nalubwama, kitaawe ye yakigula yekka
nti baganda be abagamba nti baagatta
ssente n’omugenzi (Kasiwukira)
balimba.
Mu kiwandiiko, yalaze nti baasalawo
okugabana emigabo buli omu nti
yali ateekwa kutwala obukadde
busatu mu ssente empitirivu eziva mu
kizimbe lwaki ennyingi baazirekera ye
(omugenzi) bo ne batwala obutono oba
ddala baali baakigula bonna.
Yabuuzizza nti lwaki bwe yabasasulanga
obusente obutono (3,000,000/-)
tebaamuggulako musango wadde
okumuwakanya ku kizimbe ekivaamu
obukadde obusoba mu 70.
Yalaze nti mu kiwandiiko kitaawe kye
yaleka, kkampuni yaliko bannannyini
yo basatu okuli; Eria Ssebunya
Bugembe (Kasiwukira), John Ggayi
ne Ssekabuuza ate kijja kitya abaali
abakozi okuli; Samuel Kalule (ddereeva)
ne Sarah Nanfuka eyali asasula ssente
abakozi bassibwa mu kkampuni nti
nabo baagatta ssente kyenkanyi ne
kitaawe ne bagula ekizimbe!
Ayagala annyonnyolwe, baasasulwa
ssente mmeka kitaawe batuuke
okwagala okuba n’obwannannyini ku
kizimbe kye.
Yalabudde nti bonna abakaayanira
ekizimbe kye nti balinako emigabo
tagenda kubakkiriza era takyayagala
abuzaabuza bapangisa nti ekizimbe
kyabwe.
“kino ekizimbe kyange, ebiwandiiko
bye balina sibikkiriza era bonna nabagobyeko
nze nkiddukanya kati,” Kalungi
bwe yagambye.
Yalaze nti kkampuni ya Kasiwukira
Ltd yawandiisibwa nga November 8,
1993 nga kuliko abantu basatu kyokka
kati kuliko abantu bangi abagamba nti
nabo balina emigabo gy’ekizimbe.
JOHN GGAYI AYANUKUDDE
Yayanukudde Herman Kalungi nti
oyo takyalina budde bwe. Byonna
by’ayogera agezaako kubuzaabuza era
mu lukiiko lw’abakuza waliwo ebiwandiiko
bye baamutumye by’ateekeddwa
okubanjulira.
Gye buvuddeko bwe yali ne Samuel
Kalule ne Jovita Namazzi , baategeeza
nti omwana tayagala kubawuliriza. Yategeezezza
nti baakwata ssente zaabwe
ne bagatta n’omugenzi Kasiwukira okugula
ekizimbe kya Nalubwama Arcade
era bonna abantu bataano benkanya
emigabo. buli omu alina 20 ku buli 100
era ssente ezivaamu bateekwa kuzigabana
kyenkanyi.
Kino mutabani w’omugenzi akiwakanya
nti abantu be yali akozesa
okumuddukanyiza ebyobugagga bye
era ng’abasasula obukadde busatu buli
mwezi, batuuka batya okugatta naye
ssente ezibalirirwa mu buwumbi bagule
bonna ekizimbe.
ABAGAGGA BABIYINGIDDEMU
Wakati mu lutalo, abagagga abaali
mikwano gya Kasiwukira baatuzizza
Herman Kalungi n’aba ffamire okukakkanya
embeera. Abagagga baakulembeddwa
Godfrey Kirumira, Joseph

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...