TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wuuno omulenzi asabye okuwasa Omumbejja Victoria Nkinzi

Wuuno omulenzi asabye okuwasa Omumbejja Victoria Nkinzi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

OMUVUBUKA amaze ebbanga ng’aperereza muwala wa Kabaka wa Buganda, Omumbejja Victoria Nkinzi kyaddaki amuwangudde omutima bw’amunaanise empeeta nkusibiddaawo.

Panda 703x422

Omumbejja Nkinzi ne Onyango nga basanyufu. Ku ddyo, ng'ali mu biseera bye ebyeddembe

Gareth Onyango owa kkampuni ya Flames Marketing & Advertising omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu era kitunzi akolagana n’amabaala ag’enjawulo mu Kampala okugatumbula, ‘yawangudde omutima gw’Omumbejja bw’amusabye akkirize okumuwasa.

N’Omumbejja yazzeemu nti nzikiriza olwo kwe kumunaanika empeta. Bino byabadde ku kabaga k’amazaalibwa g’Omumbejja ababiri bano ge baakulizza mu Thailand.

Ebifaananyi ebyakubiddwa n’akatambi akakwatiddwa nga Onyango afukamidde asaba Omumbejja obufumbo n’oluvannyuma ng’alaga olugalo kwe yatadde empeta ebyasaasaanye ku mikutu gya ‘social media’ byacamudde abantu bakira ababiraba nga babayozaayoza okutuuka ku kino.

Omumbejja Nkinzi ne Onyango okumala ebbanga bazze balabibwa nga bali bombi ku bubaga obw’enjawulo ne mu bifo ebisanyukirwamu wano mu ggwanga n’ebweru.

Olw’essanyu lye yafunye n’okukakasa nti ddala ali mu kintu ng’enjogera y’ennaku zino, Onyango yakyusizza n’ekifaananyi ky’abadde akozesa ku nnamba ye eya WhatsApp (Profi le picture) n’awanikayo eky’ababiri (ng’ali n’omumbejja) buli muntu kati kw’atuusizza amaaso.

MMENGO EYOGEDDE

Omwogezi w’Obwakabaka era Minisita w’amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yategeezezza nti ensonga eno nkulu ddala era Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y’alina okufulumya obubaka obutongole obugikwatako eri Obuganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Toll 220x290

Embeera ya Tamale Mirundi: Abasawo...

ABASAWO abamaze wiiki nga bajjanjaba Tamale Mirundi bamuzuddemu omusujja gw’omu byenda (Typhoid) ssaako n’obuzibu...

Abapya 220x290

Mmengo n'Abasiraamu bakukkulumye...

MMENGO eyogedde ku nkyukakyuka Pulezidenti Museveni ze yakoze mu baminisita n’egamba nti Bannayuganda bajja kusanyuka...

Yiwayiwa1 220x290

Eyawambye abaana 3 asabye ssente...

EYAWAMBYE abaana basatu e Kiboga n’asaba ssente, abazadde bazimuwadde kyokka n’abasala obulago emirambo n’agisuula...

Rugbyweb 220x290

Aba rugby ekisaawe tekibalemesa...

Hima Cement Heathens ewangudde Makerere Impis ne yeeywereza ku ntikko

Arteta 220x290

Tetujja kulemesa Arteta kwegatta...

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi muggya anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero ya November.