TOP

Ssente za Pulezidenti Museveni ziyombya abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

SSENTE Pulezidenti Museveni ze yawadde abasuubuzi, abayimbi, bannakatemba ne mu butale zizaalidde abamu ku baazifunye ebizibu. Poliisi eyingidde mu nsonga, okukkakkana ng’abamu bakwatiddwa ne baggalirwa.

Yombya 703x422

Joseph Lwanga ng’alaga mu ku bbaluwa okuli n’ekifaananyi abasuubuzi kwe basabira ssente Pulezidenti ez’okwekulaakulanya. Ku ddyo, Suzan Kushaba omu ku bakulembeze b’abakyala mu kibiina kya Cooperative mu Owino.

Ssente zino, ziyombya n’abamu ku bakulembeze mu NRM ng’abamu balaga obutali bumativu olw’okukulembeza abayimbi nga Catherine Kusasira, Buchman, Full Figure n’abategesi b’ebivvulu nga Sipapa kye bagamba nti kimalamu amaanyi abazze bakolerera ekibiina okumala ebbanga ddene.

Mu bantu abaalaze okwemulugunya kwabwe, ye ssentebe wa NRM mu Kampala, Salim Uhuru eyagambye nti, kino pulezidenti kye yakoze kiba ng’ekiraga nti, abakulembeze ba NRM mu Kampala yonna ne baminisita mu Kampala bye bakola tebimusanyusa.

Yagasseeko nti, olw’obutabeera musanyufu na bikolebwa baminisita n’abakulembeze ba NRM mu Kampala y’ensonga lwaki yasazeewo okulonda abayimbi nga Catherine Kusasira gwe yafudde omuwabuzi we ku nsonga za Kampala, Mark Bugembe amanyiddwa nga Butchman n’amufuula omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto.

Museveni kuno yagaseeko okusisinkana omuyimbi Eddy Kenzo, Jennifer Nakangubi amanyiddwa nga Full Figure ne Charles Olim amanyiddwa nga Sipapa.

Uhuru agamba nti, tebabadde na ngeri yonna gye basobola kukola bisanyusa Pulezidenti Museveni nga banna NRM tabawa bibazzaamu maanyi.

“Nze ndowooza kyabadde kikyamu okulonda Kusasira ng’omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Kampala ng’ekibuga kirina “bakaliba” baakyo abakikaddiyiddemu era abategeera ebyobufuzi byakyo”, Uhuru bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, abaalondeddwa basobola okukola omulimu n’agamba nti, tewali atasobola kukola singa aba aweereddwa ebyetaagisa okukola omulimu ng’alina n’obumanyirivu n’obukugu kyokka n’alabula nti, singa abakulembeze ba NRM banaasigala nga tebafiiriddwaako mu Kampala, Pulezidenti Museveni tasuubira obuwanguzi bwonna mu 2021 mu kibuga.

Ate ye Godfrey Nyakana amyuka ssentebe wa NRM mu Kampala yanenyezza abantu abamu abaagala okwegaggawaza nga bayita mu kye yayise okubuzaabuza Pulezidenti.

“Akulembeze bangi mu kibiina bennyamivu naye oluggi olumu bwe luggalwa, wabeerawo olulala oluggulwa.” Nyakana bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...