TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasse mukama we n'akuuliita n'obukadde mukaaga naye bamusse

Eyasse mukama we n'akuuliita n'obukadde mukaaga naye bamusse

By Paddy Bukenya

Added 8th November 2019

Kawungeezi yasoose ku ssundiro ly’amafuta ng’ali ne Bujingo era Bwe yasiseeyo bbando ya ssente omukozi we n’aziraba olwatuuse mu nnimiro yabadde ayiwa eddagala mu kiswa n’amutemaatema.

Banamwandubakawungeezinebamulekwa 703x422

Bannamwandu ba Kawungeezi (mu katono wakati) ne bamulekwa.

OMUKOZI abazizza mukama we nga yaakatunda kasooli n’amutemaatema amajambiya n’amutta n’akuliita n’ensimbi obukadde mukaaga.

Robert Kawungeezi 38, omutuuze w’e Kisoga Namuyovu mu ggombolola y’e Kyegonza mu Gomba abadde omusuubuzi w’ebirimu yattiddwa mu bukambwe omukozi we eyategeerekeseeko erya Bujingo bwe yamubazizza ng’akutamye n'amutema ejjambiya ku nsingo n’agwa olwo n’amutemaatema n’aleka ng’afudde n’akuliita n’ensimbi ezitamanyiddwa muwendo.

Kawungeezi yasoose ku ssundiro ly’amafuta ng’ali ne Bujingo era bwe yasiseeyo bbando ya ssente omukozi we n’aziraba olwatuuse mu nnimiro yabadde ayiwa eddagala mu kiswa n’amutemaatema.

Omukazi eyabadde okumpi n’ennimiro ya Kawungeezi yalabye Bujingo ng’adduka n’akuba enduulu abatuuze ne bamutaayiza ne bamukwatira ku kyalo kye Kabanda ng’adduka ne bamutemaatema ne bamutta kyokka nga ssente yazikwese dda mu nsiko.

Ssentebe w’ekyalo, Charles Majimbi yategeezezza nti omutemu (Bujingo) yamumanyira ku mukama we Kawungeezi ng’amulaba atambula naye kyokka nga teyeewandiisanga ku LC era babadde tebamanyi gye yava n’asaba abantu abaleeta abakozi okubanjula eri abakulembeze.

Poliisi y’e Kanoni yatuuse mu kifo awagudde enjega eno kyokka yasanze abatuuze batabuse nga bagezaako okuteekera omulambo gw’omutemu omuliro n’egubaggyako n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaaliro e Gombe n’ogwabadde mukama we Kawungeezi.

Omugenzi Kawungeezi abadde n’amaka abiri e Nsambwe n’e Kisoga mu Gomba era alese abakazi babiri okuli Mary Nakimbugwe gw’abadde alinamu abaana bana (4) ne Rebecca Ahereza gwabadde yaakazaalamu omwana omu akyayonka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza