TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasiraamu basomeseddwa ku nkola ya bbanka y'Obusiraamu

Abasiraamu basomeseddwa ku nkola ya bbanka y'Obusiraamu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

Sheikh Yakubu Manaafa omukugu mu bya Islamic Banking, yalabudde ba Sheikh okukuuma eby'obugagga bye balina ng’ettaka n'ategeeza nti mu nkola eno alina eby'obugagga ng’ettaka aganyulwa kinene.

Sheiks 703x422

Abamu ku ba Sheikh mu Nakawa abeetabye mu musomo gwa Islamic Banking. Mu katono ye Loodi Meeya Erias Lukwago.

Bya JAMES MAGALA


ABAKULEMBEZE  b'Obusiraamu mu munisipaali y'e Nakawa basomeseddwa ku nkola ya Bbanka eddukanyizibwa ku musingi gw'Obusiraamu eya Islamic Banking ng’erimu ku makubo agateekwa okuyitibwamu okulwanyisa obwavu mu Bannayuganda.

Sheikh Yakubu Manaafa omukugu mu bya Islamic Banking, yalabudde ba Sheikh okukuuma eby'obugagga bye balina ng’ettaka n'ategeeza nti mu nkola eno alina eby'obugagga ng’ettaka aganyulwa kinene.

Ye Loodi Meeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago yasinzidde mu musomo guno n'akuutira ba Sheikh bonna mu ggwanga okubeera abeerufu mu buweereza bwe baliko n'abawa amagezi okussa essira ku nsonga y'embalirira mu buli kye bakola.

Lukwago yagambye nti Abasiraamu balina okusoomozebwa okutali kumu ng’agamba ensonga zonna zeetoololera ku nsonga ya bwerufu n'abasaba okwetereeza.

Wano Lukwago yawaddeyo 500,000/- zigende mu nsawo ya ba Immam abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Nakawa, Immam Development Association era n'akuutira ba Sheikh okwenyigira mu mirimu egitali gimu okweggya mu bwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...

Ssengalogo 220x290

Lwaki saagala kwegatta?

NNINA ekizibu saagala kwegatta na musajja yenna. Mu kusooka nnali ntya siriimu naye kaati ntya abasajja saagala...

Ssengalogo 220x290

Mukyala muto alumba omukulu

SSENGA nnina bakyala ababiri, naye omukyala omuto alina ekizibu nti ayagala nnyo okulumba munne ate nga nabagamba...

Babirye1703422 220x290

Kkooti egattuludde Judith Babirye...

OMUBAKA Paul Musoke Ssebulime 45, yeegaanyi omwana wa Judith Babirye n’agamba nti ye talina mwana yenna mu Babirye....