TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti erabudde Gavt. ku bavunaanibwa okutta Kaweesi

Kkooti erabudde Gavt. ku bavunaanibwa okutta Kaweesi

By Edward Luyimbazi

Added 8th November 2019

GAVUMENTI eweereddwa emyezi ebiri okumaliriza okukuhhaanya obujulizi obukwata ku musango gw’okubeera n’okuwagira abayeekera ba ADF gye baggula ku bantu abagambibwa okutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi.

Case 703x422

Abavunaanibwa nga bali mu kaguli.

Bya EDWARD LUYIMBAAZI
 
GAVUMENTI eweereddwa emyezi ebiri okumaliriza okukuhhaanya obujulizi obukwata ku musango gw’okubeera n’okuwagira abayeekera ba ADF gye baggula ku bantu abagambibwa okutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi.
 
Omulamuzi wa kkooti ento e Nakawa, Ponsiano Odwori ye  yalagidde ng’abasibe bali mu kaguli ku musango guno kyokka omuwaabi wa gavumenti Hanifah Kasana n’ategeeza nti fayiro y’omusango guno ekyali wa Ssaabawaabi wa Gavumenti
bakyagyetegereza n’asababamwongereyo ku budde. 
 
Wabula looya w’abantu bano Geofrey Turyamusiima yawakanyizza okusaba kwa Kasana n’agamba nti, kati giweze emyaka ebiri bukya abantu bano babaggulako emisango gino kyokka Gavumenti ewa ensonga y’emu.
 
Yagambye nti ebikolwa by’oludda oluwaabi bityoboola eddembe ly’abawawaabirwa ery’okuwuliriza omusango mu bwangu era kati balinga ababatulugunya.
 
Turyamusiima asabye omulamuzi Odwori okugoba omusango guno kubanga oludda oluwaabi si lwetegefu okuguwulira.
 
Wabula Kasana ategeezezza nti guno mulundi gwakubiri ng’ali mu mitambo gy’omusango guno n’agamba bagwongereyo nga bwe balinda fayiro yaagwo okuva ewa Ssaabawaabi wa Gavumenti.
 
Odwori yakkiriziganyizza n’okwemulugunya kwa Turyamusiima n’agamba nti, kino kituufu waliwo okutyoboola eddembe ly’abawawaabirwa n’ayongerayo musango guno okutuusa nga January 16, 2020 era n’agamba nti, guno gwe mulundi ogusembayo ssinga oludda oluwaabi lulemwa okutandika okuguwulira ajja kugugoba.
 
Ku musango gw’okutta Kaweesi, kkooti ebadde erina okuwa ensala yaagwo okugugoba oba okugusindika mu kkooti ya Ssemateeka nga balooya b’abantu bano bwe basaba tekisobose kubanga fayiro yaagwo ekyalemedde mu Kkooti Enkulu
e Kololo ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’Ensi Yonna gye baayimbulira abantu abalala abali ku musango gwe gumu.
 
Odwori yagambye nti fayiro gy’alina si y’ekwata ku musango guno era tasobola kukola nsala yonna era ne guno yagwongeddeyo okutuusa nga January 16, 2020.
 
Abakyali mu kkooti e Nakawa kuliko; Abubaker Ntende, Osman Mohammed, Ibrahim Kissa, Abdul Majid Ojegere, Hassan Tumusiime, Saudah Ayub, Asuman Mugoya,
Hamidu Magambo, Swalley Damulira, Ahmada Shaban Senfuka,Umar Maganda, Sinaani Hibwagi, Ali Mugoya ne Abdullah Kalla.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.