TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakozi na yunivasite bavunaaniddwa gwa kubulankanya ssente

Abakozi na yunivasite bavunaaniddwa gwa kubulankanya ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

Abakozi ba yunivasite y'e Soroto babatutte mu kkooti lwa kubulankanya obukadde 15. Banno baagasimbaganye n'omulamuzi Nabende eyagaanyi okubayimirira okutuusa nga November 12,2019 lwe banaakomezebwaawo mu kkooti.

Court2jpgweb 703x422

Abasibe nga bazzibwaayo mu kaddukulu.

Bya EDWARD LUYIMBAAZI ne IGNATIUS KAMYA

 

ABAKOZI ba Yunivasite y'e Soroti 4 basimbiddwa mu kkooti erwanyisa obukenuzi n’obulyake e Kololo ne bavunaanibwa emisango esatu okuli okukozesa obubi ofiisi zaabwe, okufiiriza gavumenti ssente, obukumpanya n’okwekobaana okufera gavumenti ssente ezisoba mu bukadde 15.

 

 Abavunaaniddwa kuliko David Omeke 36, omumyuka w'avunaanyizibwa ku by’ettaka n’amayumba mu yunivasite eno, James Odongo, 41, omubalirizi wa yunivasite, Gilbert Otim 35, omuwanika ne Samuel Omonding 49, omuwandiisi be baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi, Moses Nabende  n'abasomera  emisango egyo.

 

Omuwaabi wa gavumenti, Nicholas Kawooya kigambibwa nti nga September 11 okutuusa nga 15 abantu bano baasinziira mu bifo bye balimu ku yunivasite eyo ne bakozesa ssente za yunivasite 15,900,000 nga  tebafunye lukusa ne bazeesasula ne bannaabwe abalala nga bagamba  nti baazikozesa  mu lukung'aana lw'amatendekero aga waggulu olwaliwo okuva nga September 16 okutuuka nga 18 ku Serena Hotel mu Kampala.

 

Bavunaaniddwa emisango emirala ebiri okuli ogwofiriiza gavumenti ssente n'okwekobaana ne bafera gavumenti ssente. Emisango gyonna baagyegaanye. 

 

Nga bayita mu looya waabwe, Bosco Okiror  basabye kkooti okweyimirirwa kyokka omulamuzi Nabende n'agaana okuwulira okusaba kwaabwe kubanga obudde bubade buyise ng’alina emisango emirala egy'okuwulira.

 

Abasindise ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga Novermber 12, 2019 lwe banaakomawo awulire okusaba kwabwe.

 

Bano baakwatibwa ekitongole ekirwanyisa obukenezi n'obulyake ekikulemberwa Maj.Edith Nakalema.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...