TOP

Aba Owino bakwatiddwa lwa ssente za Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

Ssente tezitabudde bannabyabufuzi n’abayimbi bokka, wabula n’abasuubuzi mu butale naddala aka St. Balikuddembe zibazaalidde ebizibu era basatu abagambibwa okuzeekomya poliisi yabakutte bayambeko mu kunoonyereza kwa poliisi.

Godi 703x422

Kino kiddiridde obutali bumativu n’okwemulugunya okuva mu basuubuzi abaakulembeddwa Suzan Tushabe akulembera abakyala ba Cooperative ekikulemberwa John Baptist Kivumbi okuvaayo ne balumiriza abakulembeze b’ekibina kino okuli; Joseph Lwanga ne Hamza Rwendeye okwezza ezimu ku nsimbi obukadde 250 ezabaweebwa Museveni.

Tushabe yagambye nti, ku bukadde 250 ezabawebwa Museveni, abakulembeze beegabanyaako obukadde 100 nga beefudde abagenda okusuubulira abasuubuzi b’akatale kano emmaali omuli; kawo, omuceere n’ebijanjaalo mu kifo ky’okuziteeka mu SACCO y’abasuubuzi bazeewole zizaale amagoba.

Kyokka Lwanga ne Rwendeye basambajja ebyogerwa abasuubuzi nga bagamba nti baatuula nabo mu ttabamiruka w’ekibiina kyabwe ne bakkaanya ssente baziwe ba ajenti okuli ne Rwendeye basuubule emmaali olwo abasuubuzi bagiggye nga ku bbo bwe batunda bazzeeyo ezaasuubudde amagoba bagasigaze.

Ssente endala obukadde 150, baagambye nti baasalawo baziteeke mu SACCO ne balaga n’empapula kwe baagambye nti kwe babadde bawolera abasuubuzi mu SACCO yaabwe.

Wabula ku Lwokubiri nga November 5, 2019 abaserikale okuva ku kitongole kya poliisi ekikola oku kunoonyereza okw’enjawulo ekya Special Investigations Division (SID) e Kireka baayise Lwanga, Rwendeye n’omu ku bammemba ba Cooperative, Sam Ssemakula ne babaggalira okumala ekiseera nga bwe bababuuza akana n’akataano, wabula oluvannyuma ne bayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapya 220x290

Mmengo n'Abasiraamu bakukkulumye...

MMENGO eyogedde ku nkyukakyuka Pulezidenti Museveni ze yakoze mu baminisita n’egamba nti Bannayuganda bajja kusanyuka...

Yiwayiwa1 220x290

Eyawambye abaana 3 asabye ssente...

EYAWAMBYE abaana basatu e Kiboga n’asaba ssente, abazadde bazimuwadde kyokka n’abasala obulago emirambo n’agisuula...

Rugbyweb 220x290

Aba rugby ekisaawe tekibalemesa...

Hima Cement Heathens ewangudde Makerere Impis ne yeeywereza ku ntikko

Arteta 220x290

Tetujja kulemesa Arteta kwegatta...

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi muggya anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero ya November.

Cecafadec152019cranesbtdjibouti41okello19571 220x290

Uganda Cranes erinze Tanzania ku...

Uganda eyagala kuwangula kikopo kya CECAFA eky'omulundi ogw'e 15.