TOP

Omukozi asse bboosi we

By Musasi wa Bukedde

Added 9th November 2019

Omukozi asse bboosi we

Kip2 703x422

Owooluganda lwa Kawungeezi ng’ayaziraana ate mu katono ye Robert Kawungeezi eyattiddwa.

OMUKOZI bwe yalabye mukama we ng’alina akavangata ka ssente, n’ategeka bw’agenda okumutta, azitwale! Amutemye amajambiya n’amutta, n’amuggyako ssente zonna. Robert Kawungeezi 38, aludde ng’akola emirimu gy’okusuubula ebirime naddala e Gomba kw’ogatta n’emirimu gy’okulima n’okulunda.

Kigambibwa nti abadde afunye ssente era ng’abakozi be bonna bwe batamuyita “Bboosi” bamuyita “Muzeeyi” (si lwa myaka wabula lwa ssente). Kawungeezi abadde yaakamala okutunda kasooli gwe yabadde asuubudde era nga bamuwadde ensimbi obukadde 6 ze yabadde nazo we baamuttidde.

Yabadde ne ppikippiki ebadde etera okumuyambako mu mirimugye era omukozi we kwe yabadde, amanyiddwaako erinnya limu erya Bujingo n’avuga bagende ku nnimiro eyeesudde akabanga okuva ku maka ga Kawungeezi.

Baasoose ku ssundiro ly’amafuta e Nsambwe – Gomba era awo Bujingo we yakakasirizza nti “Bboosi we” ssente yabadde azirina, kubanga ku ssente ezo Kawungeezi kwe yatodde ze yasasudde ku mafuta.

Kigambibwa nti, ennimiro gye baagenzeeko yabadde n’ekizibu ky’ebiswa ebibadde bitawaanya ebirime era ekimu ku bya batutte kwe kuyiwa eddagala mu biswa ebyo era eddagala eryo Kawungeezi yabadde yaliguze era baavudde nalyo awaka.

Omugenzi abadde n’amaka abiri okuli ag’e Nsambwe ne Kisoga nga gombi gali mu ggombolola y’e Kyegonza mu Gomba era yasimbudde Nsambwe ewa mukyala muto Rebecca Ahereza ku Lwokuna akawungeezi. Rebecca yagambye nti, bba yamutegeezezza nti bagenda kuyiwa ddagala mu biswa, tebagenda kulwayo.

Nga bw’asangula amaziga, Rebecca yannyonnyodde nti, kigambibwa nti Bujingo yabadde n’ejjambiya kyokka tebaakitutte nga nsonga kubanga batera okugenda n’amajambiya mu nnimiro okubayambako mu kusaawa.

Kawungeezi naye yabadde talinakwekengera kwonna era bwe baatuuse ku kiswa, musajja wattu yakutte eddagala n’atandika okuliyiwa mu kiswa era awo Bujingo we yamuttidde.

Kigambibwa nti, yamuvudde mabega n’amutema ejjambiya eyasoose ku nsingo ne mu mugongo n’akakasa nti amusse era n’amuggyamu ssente n’adduka nazo. Waliwo omukazi eyabadde ebusukkakkubo ng’alima era ye yawulidde Kawungeezi ng’alaajana. Ono ye yalabye ebyabaddewo era ye yakubye enduulu abantu ne batandika okutaayiza omutemu.

Ono (yasabye amannya galekebwe) yattottoledde poliisi bye yalabye n’engeri omutemu gye yasoose okutema obulago, oluvannyuma n’atema ebitundu ebirala era bwe yamaze okutta mukama we, ejjambiya n’agisuula ku mulambo n’amuggyamu ssente n’adduka.

Omulambo gwasangiddwa ku kiswa nga gwevuunise era poliisi yategeezezza nti teyalabyewo bubonero bwonna bulaga nti Kawungeezi yagezezzaako okwerwanako.

Gwabaddeko ebiwundu by’amajambiya bina era nga n’ensawo omwabadde ssente zifuuliddwa.

OMUTEMU NAYE BAMUSSE NE BOOKYA N’OMULAMBO

Abantu e Nsambwe mu Gomba baataayizza wonna era kigambibwa nti Bujingo bwe yategedde nti bamuyigga n’asooka yeekukuma mu kibira ng’alinda buzibe alyoke yeeyongereyo; wabula abaabadde ku muyiggo nabo baasigadde bayigga era olwabadde okuva gye yabadde yeekukumye ne bamutaayiza ne bamukuba ne bamutta. Omulambo baagukumyeko omuliro ne guteta wabula amayitire ga ssente tegannamanyika.

Abamu obwedda bagamba nti omutemu yasoose kuzikweka mu nsiko ng’atidde okumusanga nazo ne bazitwala, ate abalala nga bakissaawo nti kisoboka okuba nga zaatwaliddwa bantu abaasoose okukwata Bujingo.

Charles Majimbi, Ssentebe w’e Nsambwe yategeezezza nti omutemu (Bujingo) yamumanyira ku mukama we Kawungeezi era ng’amulaba batambula bonna kyokka nga teyewandiisanga ku LC era babadde tebamanyi gye yava.

Yasabye abantu abaleeta abakozi okubanjula eri abakulembeze n’okufaayo okumanya ebibakwatako n’ebyafaayo byabwe kubanga abamu bava gye bavudde nga nayo baakolayo ebikolobero. Emirambo gyombi gyatwaliddwa e Gombe wabula oluvannyuma ogwa Kawungeezi gwaweereddwa abooluganda wakati mu maziga n’okwaziirana.

Alphonse Musoni, aduumira poliisi y’e Gomba yavumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo. Kawungeezi bamulesezza abaana bataano okuli be yazaala mu mukyala omukulu Mary Nakimbugwe n’omwana asembayo obuto gwe yazaala mu Rebecca.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...