TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatemu bannyonnyodde Poliisi ebiwuniikiriza, baakatta aba boda boda 13 ne babanywamu omusaayi

Abatemu bannyonnyodde Poliisi ebiwuniikiriza, baakatta aba boda boda 13 ne babanywamu omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 9th November 2019

Abatemu bannyonnyodde Poliisi ebiwuniikiriza, baakatta aba boda boda 13 ne babanywamu omusaayi

Pop2 703x422

inister Karoro (mu kitengi) ng’awuliriza abakwate bwe beewaako obujulizi. Baabadde ku poliisi ye’ Kazo.

EKIBINJA ky’ababbi kiwuniikirizza abeebyokwerinda mu bitundu bya Kiruhura mu Ankole bwe bategeezezza nti baakatta abavuzi ba boodabooda 13 nga bwe banywa omusaayi gwabwe.

Bano okwogera bino, baabadde ku poliisi mu disitulikiti y’e Kazo eyakutuddwa ku Kiruhura eyabakutte mu kikwekweto ky’okufuuza abamenyi b’amateeka mu kitundu. Abaakwatiddwa bammemba b’akabinja ka ‘Twilight’ akabadde katigomya aba boodabooda mu bitundu kuli, Ssembabule, Kiruhura, Kazo, Mirama Hills n’ebitundu bya Ankole ebirala.

Ku Lwokuna, poliisi yalaze bannamawulire ne minisita Mary Karoro Okurut abasajja bataano abaakwatiddwa ku by’okutemula aba boodabooda. Bano kuliko, Clesensio Kiiza 20, Godius Ahebwa 19, John Tumuhairwe 29, Sam Ssemanda 57, (omusamize w’e Ssembabule ku kyalo Keizoba) ne Enos Kabagambe 20 ow’oku kyalo Kakinga mu ggombolola y’e Burunga.

Ahebwa yagambye nti, yeegatta ku kibinja kino mu 2016 era yaakatta ababoodabooda munaana ng’akozesa muguwa. Ono yannyonnyodde nti, Kiiza ye yamuyingiza mu kibinja kino era mukama waabwe yadduse.

Yannyonnyodde nti bwe yayingira akabinja, Kiiza yamugamba nti waliwo omusamize e Ssembabule asobola okubawa eddagala ne batakwatibwa era n’amutwala ewa Ssemanda e Ssembabule n’abawa eddagala ne balinywa n’abakalaatira nti, omuntu yenna gwe basooka okutta balina okunywa omusaayi gwe era bwe banaakikola, bajja kuba bamaze okweteerawo obukuumi obutakwatibwa.

“Omuntu eyasooka gwe nasooka namuttira mu kibira e Ssembabule era omusaayi gwe ne ngunywa.” Ahebwa bwe yagambye.

Yagaseeko nti, owa bbooda gwe yaddako okutta, yamuttira ku lutindo lw’e Rushere ate eyaddako n’amuttira ku kyalo Kabagore ate omulala yamuttira mu kibira ky’e Kazo eyaddako, yagambye nti, baamutta omulambo ne bagusuula mu mugga gw’e Rwenkoma ate omulala baamuttira Nshwerenkye n’eyasembayo baamuttira ku kyalo Kirundi e Ssembabule era nga byonna babikola ne mukama waabwe Akandwanaho ow’oku kyalo Kyera e Ssembabule. Ono buli ppikippiki gye babadde bamutwalira ng’abasasula wakati wa 200,000/- ne 300,000/-

. N’abalala okwabadde Kiiza bannyonnyodde nti, okutemula kw’aba bboodabbooda babadde bakufunamu akasente okuva ewa Akandwanaho era y’abadde abafunira n’aba bboodabbooda be balina okutta.

Wabula Ssemanda ye eby’okukolagana n’akabinja k’abatemu bano yabyegaanyi wadde nga bo baabadde bamulumiriza. Omwogezi wa poliisi mu bintundu by’e Rwiizi, Richard Ecega yagambye nti, bagenda kukozesa obujulizi abatemu bwe beewaddeko okubatwala mu kkooti.

Abantu be batta kuliko; Mathias Kentore eyattibwa mu October omwaka guno, omulala eyategerekekako erya Nuwagira okuva mu Mirama, Coleb ow’e Bwesibirabo n’abalala okuva mu Kazo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza