TOP

Omupoliisi bamukubye amasasi 150 mu lujjudde

By Musasi wa Bukedde

Added 9th November 2019

Omupoliisi bamukubye amasasi 150 mu lujjudde

Kit2 703x422

Ivan Guzman eyadda mu kifo kya kitaawe.

ABAYAGA beesomye, bakubye omuduumizi wa poliisi amasasi 150 lwa kukulembera kikwekweto ekyakutte omuyaga ow’amaanyi mu ggwanga agattibwe ku kitaawe eyakwatibwa gye buvuddeko era ng’ali mu nkomyo mu Amerika.

Baamulinnye kagere ku Lwokusatu ku makya ssaawa 3:00 okuva okumpi n’amaka ge nga takitegedde n’agenda ku dduuka okubaako by’agula alyoke agende ku mulimu.

Mmotoka ye eyaabuyonjo enjeru eyabadde evugibwa omuyambi we, yabadde egobererwa mmotoka endala ayaabuyonjo emmyufu eyabaddemu abatemu ababiri ab’emmundu lwasamayinja nga bavugibwa omuntu omulala.

Owapoliisi olwayimiridde ku dduuka waayise obutikitiki nga bubiri n’abatemu nga babuuse mu yaabwe eyasimbye amabega w’eyiye ne basasira amasasi emmotoka y’owapoliisi okuva erudda n’erududda agaabaliddwa oluvannyuma nga gaaweze 150 abaabaddemu ne bafa n’emmotoka yaabwe ng’ewomoggoddwaamu agatuli okusinziira ku mawulire ga DailMail ag’e Bungereza.

Ensiitaano eyasse ofiisa, Eduardo 'N,' 32, abadde omuduumizi w’ebikwekweto mu poliisi mu kibuga Culiacan mu ssaza ly’e Sinalo mu ggwanga lya Mexico, yamaze obutikitiki 30 bwokka nga buli mmundu ku bbiri ezaakozeseddwa efulumizza amasasi agasukka mu 70 okutta omuntu omu!

Baabadde bamulanga kuduumira kikwekweto ekyakwata omuyaga, Ovidio Guzmán López, 28 nga 17 October, 2019. Ovido mutabani wa ssaabayaga, Joaquín El Chapo asuubula enjaga ng’essaawa eno yasibibwa mu Amerika obulamu bwe bwonna mu July w’omwaka guno.

Ovido ng’akwatiddwa poliisi ya Mexico eyali ewagirwa Amerika nga naye ekigendererwa kyali kya kumutwala asibwe ne kitaawe, mukulu we Iván Archivaldo Guzmán ng’ayakulira abayaga, yabalagira okulumba amagye ne poliisi bubeefuka era emmundu eyasekera mu bibuga eby’enjawulo, yawaliriza Pulezidenti wa Mexico okulagira Ovido ayimbulwe.

Olutalo ku olwo lwamala essaawa nnya ne lufiiramu abapoliisi bangi n’abantu baabulijjo n’emirimu ne gisannyalala olunaku lwonna ng’abantu badduse bali waka beekukumye.

Pulezidenti wa Mexico, Andrés Manuel López Obrador yagezaako okwewozaako lwaki yayimbudde omuyaga atigomya abantu ng’abaguza ebitamiiza ebivuddeko empisa okufa mu bavubuka mu ggwanga eryo n’agamba nti yali ayagala kukomya kittabantu ekyali kibaluseewo wakati w’amagye, abayaga ne poliisi y’eggwanga lye.

Olutalo lwafiiramu abantu 13 ng’abasinga baafiira mu ddakiika omunaana ezaasooka nga lutandise kubanga nalwo lwatandika tewali alusuubidde.

Ng’ayimbuddwa, Ovido yavumaavuma abapoliisi bonna abeenyigidde mu kikwekweto ekyali kimuyodde.

Waakayita wiiki ssatu zokka n’eyakulira ekikwekweto ne bamutta. Mexico, emu ku nsi ezisingamu abayaga, n’ebeerera ddala ku bunkenke olw’omuyaga oguvudde ku bayaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza