TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalwanyisa Trump okumuggya mu ntebe bongedde ggiya

Abalwanyisa Trump okumuggya mu ntebe bongedde ggiya

By Musasi wa Bukedde

Added 9th November 2019

Abalwanyisa Trump okumuggya mu ntebe bongedde ggiya

Tr2 703x422

ABALWANYISA Trump okumuggyamu obwesige bongeddemu ggiya, okutandika okuwulira obujulizi mu lujjude kutandika wiiki ejja. Adam Schiff akulira akakiiko akanoonyereza ategeezezza nti bawandiikidde aba Repubican bategeeze akakiiko ke amannya g’abajulizi be baagala bayite.

Baatandikidde ku mbega eyalumika essimu wabula looya we n’abategeeza nti si mwetegefu kuleeta muntu we mu lujjudde ajja kusobola kwanukula mu buwandiike ku bimubuuzibwa byonna.

Omujulizi eyawadde obujulizi ku Lwokuna yabadde Jennifer Williams, omuyambi w’omumyuka wa Pulezidenti, Mike Pence ku nsonga za Bulaaya ne Russia.

Kyokka eyali omuwabuzi wa Trump ku byokwerinda John Bolton gwe yagobye mu September teyalabiseeko mu kakiiko ng’agamba nti alina omusango Trump gwe yateeka mu kkooti gusooke gusalibwe.

Trump yateekayo omusango ng’awaakanya okumunoonyerezaako ne bamulagira okuwaayo ebiwandiiko ebiraga nga bw’azze asasula omusolo mu myaka egiyise. Bolton agamba nti ensonga zino zaakuggwera mu kkooti Ensukkulumu kubanga erina okusalawo oba tekikontana na Ssemateeka, embeera eriwo eraga nti omusango guno gwakuyingira mu 2020.

Trump yali asabye kkooti ewe ekiragiro ekiyimiriza okuwa abamulwanyisa ebikwata ku nsasula y’omusolo ng’omusango tegunnaba kusalibwa kyokka kino kkooti yakigobye. Abakungu abasooka okuwa obujulizi mu kyama wiiki ejja baaleetebwa mu lujjudde baanike Trump.

Bano kuliko William Taylor, omubaka wa Amerika mu Ukraine, ne George Kent. Marie Yovanovitch Trump gwe yagoba ku ky’omubaka wa Amerika mu Ukraine nga tamuwadde kadde kwennyonnyolako naye ajja mu kakiiko.

LOOYA W’OMUKESSI WA AMERIKA AWANDIIKIDDE TRUMP EBBALUWA

Okuwandiika ebbaluwa kivudde ku bigambo ebisongovu Trump by’azze ayogerera omukessi eyalumika essimu ye ng’ayogera ne pulezidenti wa Ukraine Volodymyr Zelensky, ekimuviiriddeko ebizibu abamuvuganya ne batuuka okuteekawo akakiiko akabuuliriza okumuggyamu obwesige.

Omukessi ataayatuukirizibwa mannya yalumika essimu nga Trump mu July omwaka guno ng’ ateeka Zelensky ku nninga ateekewo akakiiko kabuulirize ku Joe Biden asuubira okuvuganya Trump.

Ekyo tekyanditiisizza nnyo naye abamuvuganya bagamba nti yakozesa bubi ofiisi ya Pulezidenti wa Amerika kubanga yawa akakwakkulizo nti bw’atakola ky’ayagala ajja kumusalako obuyambi obuva mu Amerika.

Okuva ebintu lwe byayonoonekera Trump, azze ayogera ebisongovu n’okutiisatiisa omuntu eyasomola ebyama bino. Ebbaluwa looya Andrew Bakaj gye yawandiise, munnamateeka w’amaka g’Obwapulezidenti (White House) Pat Cipollone yakakasizza okugifuna.

“Mpandiise nga nkussaamu ekitiibwa era nkusaba obuulirire omuntu wo ku nkola y’amateeka n’empisa ezigobererwa. Singa omuntu wange oba aba ffamire ye bafuna obuzibu olw’ebigambo bya Trump n’empisa ensiiwuufu eziringa ze yeewola amateeka gajja kukola”, Bakaj bwe yalabudde.

Trump azze ayogera bingi ng’agamba nti eyalumika essimu taliiyo bwe babeera bakakasa nti gy’ali baasanguze erinnya lye ensi emumanye era yeebuuza lwaki bamubikkirira. Kino kikontana n’amateeka ga Amerika agakuuma omuntu oyo abeera alabye azzizza omusango n’atemya ku boobuyinza.

Ebbaluwa looya gye yawandiise, munnamawulire wa CNN Anderson Cooper ye yagisomodde. Singa abanoonyereza bakizuula nti ddala Trump omusango yagukola ekiddirira kubeera ku muggyamu bwesige

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza