TOP

Gavt. etadde ku ba LDU amateeka amakakali

By Musasi wa Bukedde

Added 9th November 2019

Gavt. etadde ku ba LDU amateeka amakakali

Kip2 703x422

Lt. Col. Hassan Kalungi avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa mu ba LDU ng’ayogera eri abatuuze b’e Kamwokya.c

AMAGYE gavuddeyo ku baserikale ba LDU abasiiwuuse empisa ne batuuka n’okutta abantu. Babataddeko amateeka amakakali. Agamu ku mateeka amaggya mulimu okuweebwa ebyambalo okuli amannya n’ennamba n’obutaddamu kutambula ssekinnoomu.

Lt. Col. Hassan Kalungi, akwasisa empisa mu baserikale ba LDU mu Kampala n’emiriraano ye yakulembedde amagye ng’ali wamu ne poliisi ne bakuba olukuhhaana lw’ebyokwerinda e Kamwokya ku katale mwe baasisinkanidde abakulembeze ba LC, abasuubuzi n’abantu baabulijjo.

Abatuuze be baasoose okuwaayo okwemulugunya kwabwe ku ba LDU. Baabalumirizza okubatulugunya nga babaggyako densite ze bamala ne bayuza, okukuba abantu kibooko n’okubaggyako ssente. Baanenyezza poliisi olw’okukola olugambo ku babawadde amawulire ku bantu abakyamu.

Obulamu bw’abantu bangi buli mu matigga ng’obuzibu buvudde ku poliisi etesobola kukuuma byama. Lt. Col. Kalungi yagambye nti wadde bazze bawulira okwemulugunya, kyokka abantu tebavaayo kubatuukirira nga babawa obujulizi.

Kino kibazibuwaliza okukangavvula abaserikale, wadde nga waliwo bangi abazze bavunaanibwa. Oluvannyuma yalangiridde amateeka amaggya ge batadde ku ba LDU okuli; l Okubawa ebyambalo okuwandiikiddwa amannya n’ennamba.

Kino kyakwanguyiza abantu okubaloopa nga babakozeeko ebikolobero. l Wagenda kuteekebwawo enkola erondoola buli muserikale w’aba atambulira. l Tewali muserikale akkirizibwa kutambula yekka.

Bwe baba balawuna balina kukikolera mu kibinja era nga kuliko n’omuserikale wa poliisi abatambulirako. l Ku ky’okukwata abantu abatalina musango kigenda kugonjoolwa nga batambula n’abakulembeze b’ebitundu naddala ssentebe n’oweebyokwerinda ku kyalo kuba be basinga okumanya abatuuze.

Yagabye ennamba y’essimu eya 0772 545538 nga y’eyiye n’awa abatuuze amagezi okugikubako singa bafuna okunyigirizibwa okuva mu ba LDU. Enteekateeka y’okusisinkana abantu baabulijjo egenda kutwalibwa mu bitundu bya Kampala ebirala nga babasomesa ku ngeri y’okunywezaamu ebyokwerinda.

BANENYEZZA ABAGAYAAVU SSP Christopher Kwerit, akulira okusomesa ebyobufuzi mu poliisi yanenyezza abantu olw’okubeera abalagajjavu ng’abamu batuuka n’obutanyweza nzigi. Baawabuddwa okusibanga kkufulu munda mu nnyumba n’okwongera enkolagana y’emiriraano nga buli omu afuuka mbega ewa munne.

Abatuuze era baalabuddwa obutatwalira mateeka mu ngalo, era bwe babeerako omuntu gwe beekengedde bategeeze poliisi. “Okutta tekiyamba kukendeeza bumenyi bw’amateeka okuggyako okubwongera,” bwe yagambye.

Ekitundu kye Kamwokya gye buvuddeko kyagwamu entiisa, omutuuze Moses Baluku eyali ava okukola ekiro bwe yakubibwa abagambibwa okuba aba LDU amasasi agaamuggya mu budde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza