TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kiikino ekyuma ekikamula omubisi n'okukola amata g'obuwunga

Kiikino ekyuma ekikamula omubisi n'okukola amata g'obuwunga

By Musasi wa Bukedde

Added 9th November 2019

Kiikino ekyuma ekikamula omubisi n'okukola amata g'obuwunga

Jip2 703x422

Julius Nyanzi (ku kkono) ng’alaga akuuma akakamula omubisi n’amata ga Coconut bwe kakola.

NKUKULISAAYO munnaffe ggwe eyatwala obudde Olwokuna oluwedde mu musomo gwaffe ogwa Sundowner ogwabadde ku Sharing e Nsambya. Gwetabiddwaamu abantu ab’enjawulo okuva wano n’ebweru w’eggwanga.

Ntwala omukisa guno okwebaza abantu bonna okuli n’abasomesa okuva mu yunivasite e Makerere. Era nkakasa nga bangi balina kye bayinza era basobola okwetandikirawo emirimu.

Leero kannyongere okuttaanya ku bye twayize, abaabaddeyo bongere okwetegereza ate abataasobodde kubeerayo nammwe mukozese omukisa guno okumanya ebyabaddeyo. Ka twogere ku kutandikawo ebbaala y’okukamula omubisi, abangi bamanyidde bbaala ya mwenge, wabula n’ey’omubisi nayo ekola ssente.

Omubisi ono alina enjawulo ku ono waabulijjo mu nkamula, kubanga ekyuma ekimukamula tekyetooloola nga bw’olaba buno ‘bu bbulenda’ kubanga amannyo gaabwo gamenyamenya ebibala ne gukendeeza ebiriisa.

So nga ekyuma kino ekipya tekikola kityo kubanga kyo kikenenula omubisi ate nga tekisse kiriisa.

 bamu ku bantu abeetabye mu musomo gwa undowner ku haring ku wokuna Abamu ku bantu abeetabye mu musomo gwa Sundowner ku Sharing ku Lwokuna.

Kino ekyuma kifaananako amannyo g’omuntu kubanga kisala mpolampola ebiguwaguwa ne biba nga tebiggwaamu kiriisa ate n’omubisi guwangaala ekiseera kiwanvu kyokka kisobola n’okukamula Coconut n’okola amata.

Kyokka n’omuntu asigala awaka okugeza abaana mu luwummula baba basobola okukakozesa ne bayingiza ensimbi oba omukyala atalina mulimu. Kakamula ebibala byonna n’emiddo.

Abantu bonna abaagala okutandikawo bizinensi eno osobola okujja n’oyiga bwe bakozesa ekyuma kino ate naawe ali mu nzijanjaba ey’ekinnansi osobola okujja ne tukufunira ekyuma kino.

Akuuma kano kakamula liita 60 olunaku ate nga kakozesa amasannyalaze ne soola. Jjukira omuddo ddagala era osobola okukozesa ekyuma kino n’okukamula eddagala n’omubisi n’oguteeka ne mu kidomola ekya silver ekikuuma omubisi okumala omwaka mulamba.

Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...