TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Atomedde omuntu nadduka bamutaayiza ne bookya emmotoka ye n'esaanawo

Atomedde omuntu nadduka bamutaayiza ne bookya emmotoka ye n'esaanawo

By Lawrence Kizito

Added 10th November 2019

Atomedde omuntu nadduka bamutaayiza ne bookya emmotoka ye n'esaanawo

Mo1 703x422

Agambibwa okutomera omuntu mu katono ate mu kinene y'emmnotoka eyokeddwa

ABA bboodabooda bakoze effujjo ku yatomedde munnaabwe ne bamukuba emiggo n’oluvanyuma ne bookya emotoka ye n'esaanawo.

Bino bibadde mu zooni ya Bulange, ku luguudo olwa bbulwamu polofeesa Apollo Nsibambi, mu munisipaali y’e Lubaga mu kiro ekyakeesezza Sande.

Lawrence Namugera omutuuze w’e Lusaze mu Munisipaali y’e Lubaga nga makanika wa motoka mu kampuni ya Toyota, ne munne eyategeerekese nga Willy Kibirango, be baasimattuse okuttibwa ekibinja ky’Abavuzi ba bboodabooda, wabula emotoka gye baabaddemu, ekika kya Karib nnamba UAJ 707P ne bagiteekera omuliro n’ebengeya.

Namugera gwe twasanze mu makaage e Lusaze, ng’ayogera omukka abaka mubake yategeezezza nti yabadde avuga emotoka mu bitundu bye Nakulabye  ku ssaawa nga mukaaga ez’ekiro, kwe kwekanga owa bboodabooda eyayingidde mu kkubo akapaalo, ne batomeregana.

Engeri emotoka gye yabadde ku misinde teyasobodde kusibirawo, wabula yagenze okulaba ng’oluseregende lwa bboodabooda lumuvaako e mabega, kwe kwongera okuvuga anoonye we yeetaasiza, naye nga pikipiki zeeyongera bungi.

Baamuzingizza ku luguudo olwabbulwamu Polofeesa Nsibambi, okuliraana Biyem Hotel ne bamukuba bubi nnyo.

Elvis Lubega, eyabaddewo ng’aba bboodabooda bakuba Namugera ne munne Kibirango yategeezezza nti, zaabadde zikunukkiriza okuwera ssaawa musanvu ez’ekiro kwe kuwulira oluyogaano lwaba bboodabooda abaabadde balekaana n’okukuba engombe ez’okumukumu kwe kuzuukuka alabe ogubadde.

 Yagenze okutuuka yasanze aba bboodabooda tebasalikako musale nga bakuba Namugera ne munne emiggo, ebikonde n’ensabaggere. Baabeebasizza mu luguudo nga bwe babavugirako pikipiki, paka poliisi lwe yazze n'ekuba amasasi mu bbanga ne badduka.

POLIISI EYOGEDDE

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti owa bboodabooda Namugera gwe yatomedde teyafudde wabula pikipiki ye yawagamidde mu motoka ya Namugera n’agenda ng’agikulula aba bboodabooda kwe kumugoba.

Yagambye nti Poliisi ekyanonyereza nga yakufulumya alipoota enzijuvu ku byabaddewo oluvanyuma lw'okwetegereza ensonga. Tewali yakwatiddwa mu ffujjo lino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...