BAZADDE b’omuyizi wa S.4 eyafiiridde mu Nyanja batadde akazito ku bakulira essomero lya Kisubi Mapeere S.S banyonnyole engeri omwana waabwe gye yatuuse ku Nyanja gye yafiiridde.

Daisy Nabukalu ne Frank Magezi abatuuze be Nabweru mu minisipaali ye Nansana baagala abakulira essomero lino babulire engeri omwana waabwe Deo Keezala gye yatuuse ku nnyaja okuliraana bbiici ya Missed Call Entebbe gye yafiiridde ku Lwomukaaga.
Bano basangiddwa e Ntebbe nga bali ku muyigo gw’omulambo gw’omwa waabwe ng’ono okugwa mu nnyaja yabadde agenze kwe ssanyusaamu ne mune Jackson Isingoma.

Keezala abadde amaliriza ku Lwakubiri ebigezo bye n'ekigezo kya Kompyuta nga Isingoma yategeezezza nga bwe babuse ekikomera kye ssomero okufula essomero ku ssaawa 10:00ezakawungezi ku Lwomukaaga.