TOP

Bakutte takisi mwe babbira abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2019

POLIISI ya CPS ekutte takisi erudde ng’ebbirwamu abasaabaze ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala n’omwezi oguwedde yakwatibwa ku musango gwe gumu.

Takisi3 703x422

Ronald lwe yasooka okukwatibwa ate n’ayimbulwa.

Takisi nnamba UAV 545J y’erudde ng’abasaabaze bagyemulugunyaako ng’emisango bazze bagiroopa ku poliisi ezenjawulo.

Omwezi oguwedde Kizza Sserwadda 32, ow’e Makerere Kavule yaddukira ku poliisi y’oku Kaleerwe n’aggulawo omusango ku fayiro nnamba SD REF:36/12/9/2019.

Sserwadda yategeeza nti yalinnya takisi eno mu September ku luguudo oludda e Gayaza ne bamubbako 1200,000/.

Mu kukwata takisi omugoba waayo eyategeerekeseeko erya Ronald yadduka abaserikale ne balagira nnannyini yo Abdallah Kasujja okumukwata.

Kasujja yakwata Ronald n’amukwasa poliisi y’oku Kaleerwe n’akkiriza okusasula Sserwadda, ne bamuta.

Kyokka ku Lwokusatu poliisi ya CPS yazzeemu okukwata takisi eno ku nsonga y’emu Ronald n’adduka.

Kasujja yategeezezza nti bannanyini mmotoka tebalina buzibu wabula be baziwa, n’asaba poliisi ku luno emuwe emmotoka ye kuba omusibe yamukwata ate bo ne bamuta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....