TOP

Uhuru ne banno nze ndi bboosi wammwe - Kusasira

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2019

CATHERINE Kusasira ali mu kattu, abakulembeze ba NRM mu Kampala bwe bamulabudde nti amanye w’akoma alekere awo okubaleetako ettuntu lye ly’avudde nalyo mu kuzannya katemba n’okuyimba.

Boss1 703x422

Kusasira (wakati) bwe yabadde atongoza ekibiina ky’abavubuka e Kibiri.

Bino biddiridde Kusasira okulengezza ssentebe wa NRM mu Kampala, Salim Uhuru nti bw’aba ayagala okumusisinkana, alina kusooka kumuwandiikira kubanga ekifo eky’obuwabuzi Pulezidenti Museveni kye yamugonnomoddeko kimussa ku ddaala ly’abantu abakulu ennyo mu ggwanga.

Kusasira okumutabukira kyaddiridde Uhuru okwemulugunya ku kulondebwa kwa Kusasira ne Bucherman, Full Figure ne Sipapa okumuyambako okukola omulimu mu bavubuka ab’omu Ghetto ne mu Kampala.

Kusasira omulimu yagutandikiddewo era yagambye nti teyazze mu byabufuzi nga Uhuru bw’alowooza wabula kukunga bantu na kuwabula Pulezidenti ku nsonga ezitabula Kampala.

“ Uhuru y’ani okulaba Pulezidenti w’eggwanga mu kamwa? Nze mbadde mu NRM ebbanga ddene naye emirimu gya Uhuru mbadde siwulira wadde okumulanga ng’agikola.” Kusasira bwe yagambye

Yagasseeko nti, “Omuntu alwanyisa Kusasira ye mulabe wa gavumenti asooka. Katonda yantaddewo ng’olujegere era lulina kwegatta luwere ate ndi lugogo olugenda okuyitangamu bye mwetaaga okuva ewa Pulezidenti.

Abaalemwa edda be babadde balemesa fayiro z’abantu okutuuka ku mukulembeze ate era be banjogerera.

Ndi waggulu wa Uhuru nga nze Senior Presidential Advisor ku nsonga za Kampala, (Omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku nsonga za Kampala) mmanyi Kampala alimu abantu abajjamu obuzzi n’abasulamu, bonna njagala kubakunga kukulaakulana n’okuwagira gavumenti ebakulaakulanye.

Bino Kusasira yabyogeredde Kibiri gye yabadde omugenyi omukulu ku luguudo lw’e Busaabala mu kutongoza ekibiina ky’abavubuka ekya, Kibiri Grass Root Development Association ku Lwomukaaga mu bbaala ya Red Lion Bar.

ABA NRM BAGUGUMBUDDE KUSASIRA

Godfrey Nyakana, omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala ekitundu kya Kampala yagambye nti; Kusasira asaana amanye nti ekibiina kya bantu bampisa.

Enfunda nnyingi ababaka ba Pulezidenti (ba RCC) mu Kampala babadde batutuukirira ne batwebuuzaako kubanga bakimanyi ffe bannannyini Kampala.

Ekibiina kya NRM kirina emitendera gy’obukulembeze kwe tutambulira era gyonna giweebwa ekitiibwa okuviira ddala ku ssentebe waakyo.

Salim Uhuru; Kusasira asaana kusooka kutwala Kyankwanzi ateekebwemu empisa eziba mu bukulembeze.

Kirabika n’ekifo kyennyini kye baamuwadde tamanyi kye kitegeeza, ye alowooza nti tewaliiwo bawabuzi ba Pulezidenti balala.

Abamu ku ffe tutadde mu kibiina kyaffe buli ekyetaagisa kyonna omuli; ensimbi enkalu, obudde bwaffe n’obulamu bwaffe bwennyini, naye kyewuunyisa nti Pulezidenti lwakyadde mu Kampala n’atwerabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam