Ku ssaawa 1:00 ey’okumakya abantu baabadde baatandise dda okusimba ennyiriri okuyingira mu musomo.
Enyiriri zaasimbiddwa okuva ku mulyango omunene oguyingira ku kitebe kya kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde esangibwa ku Plot 19/21 Third street mu Industrial Area.
Abakungu okuva mu Minisitule y’ettaka, aba Buganda Land Board, abakungu mu poliisi abaakulembeddwa Charles Mutungi aduumira ekibinja kya poliisi ekikola ku by’ettaka ne Emillian Kayima; kw’ossa ab’ekitongole ekiramuzi, bannamateeka n’abakungu abalala abakola ku nsonga z’ettaka.
Pulogulaamu yatandise ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ng’eweerezebwa butereevu ku Bukedde FM Embuutikizi ate ku ssaawa 7:00 ez’emisana n’egenda butereevu ku mpewo za Bukedde TV 1.
Abantu abenjawulo okuva mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu baabadde n’ebizibu by’okugobwa ku ttaka nga kuno kuliko Aloysius Kakande eyavudde e Ggomba, Sulaiman Mugisha okuva e Kisugu, ekkanisa gweyagoba, Kevin Nantongo yagobwa Mulago, Rose Kawuki Namuddu eyavudde e Nakawuka n’abalala bangi.
Vision Group efulumya ne Bukedde be baategese Ekimeeza kino nga bayita mu nteekateeka ewagirwa ekitongole kya nnakyewa ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Democratic Governance Facility (DGF) okuyambako abantu okwanguyirwa okufuna obwenkanya.
Abantu bangi baaweereddwa omwagaanya okwanja ensonga z’ettaka n’ebibanja ezibabobbya omutwe nga bazitegeeza abakugu n’abakwatibwako okuva mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo; omuntu wa bulijjo asobole okuyambibwa.
Enteekateeka eno eddiridde okuyaayaana abantu kwe bazze balaga nga baagala okuweebwa omwagaanya okwogera ku nsonga z’ettaka n’ebibanja n’ekiruubirirwa eky’abakulembeze wamu n’abakungu mu minisitule ezikwatibwako ebyettaka n’ebyamateeka okuyingira mu nsonga bayambeko okuzigonjoola.
Akulira enteekateeka eno Richard Kayiira yagambye nti Bukedde azze atalaaga ebitundu eby’enjawulo okuli Mubende ne Lugazi, naye ng’ekizibu ky’ettaka kivaayo nnyo mu buli lukung’aana lwe bakuba okwogera ku nsonga eziruma abantu mu kitundu ekyo.
Ku kino kwe baasinzidde okusalawo okutegeka Ekimeeza nga kiri ku nsonga za ttaka zokka.