TOP

Poliisi ewadde abatambuza enseenene ebiragiro

By Samuel Balagadde

Added 11th November 2019

Yagambye nti kino tekigenda kuziyiza bubenje bwokka wabula kijja kuyamba n’abazirya kubanga zijja kutuukanga mu katale nga tezoonoonese. Ssebambulidde yagambye nti okussa enseenene mu takisi omutuula abantu kyabulabe eri abazirya kubanga emmotoka zibeera ncaafu.

Nseneneweb 703x422

Abantu nga bagula enseenene ezaabadde zitikkiddwa ku ttakisi.

POLIISI y’ebidduka eragidde abatambuza enseenene okufuna ebidduka ebituufu mwe balina okuzitambuliza.

Omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Charles Ssebambulidde yabalagidde okufuna kabangali oba loole bazookereko emitayimbwa kwe baba bassa ekkutiya z’ensenene.

Yagambye  nti kino tekigenda kuziyiza bubenje bwokka wabula kijja kuyamba n’abazirya kubanga zijja kutuukanga mu katale nga tezoonoonese. Ssebambulidde yagambye nti okussa enseenene mu takisi omutuula abantu kyabulabe eri abazirya kubanga emmotoka zibeera ncaafu.

Ate okuzitikka akabindo kiremesa baddereeva okulaba obulungi gye balaga ekiyinza okuvaako obubenje. Yagambye nti abataagondere mateeka bajja kukwatibwa bavunaanibwe.

Yasabye abali mu bizinensi eno okufaayo okugondera amateeka okwewala okufiirwa kubanga enseenene zoonooneka mangu ng’okukwata emmotoka kijja kwonoona bizinensi zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...