TOP

Takisi etomedde owabbooda ddereeva n'adduka

By Ponsiano Nsimbi

Added 11th November 2019

Mugoya yabadde atambuza ‘Ice Cream’, ku ppikippiki nnamba UDX 456E, takisi okumutomera yabadde asala oluguudo okudda ku ludda olulala. Ddereeva wa takisi ne kondakita olwamaze okukola akabenje ne badduka emmotoka ne bagireeka awo.

Acc2web 703x422

Owa bbooda agudde wansi nga takisi yakamala okumukoona.

TAKISI   etomedde owabboodabooda n’emumenya okugulu.
 
Akabenje kaabadde Sseguku ku mayiro mukaaga ku luguudo lw’e Ntebe, takisi nnamba UAX 717A eyabadde eva e Ntebe ng’edda e Kampala bwe yalemeredde omugoba waayo n’etomera Benson Mugoya ow’e Kajjansi n’emumenya okugulu.
 
Mugoya yabadde atambuza ‘Ice Cream’, ku ppikippiki nnamba UDX 456E, takisi okumutomera yabadde asala oluguudo okudda ku ludda olulala. Ddereeva wa takisi ne kondakita olwamaze okukola akabenje ne badduka emmotoka ne bagireeka awo. 
 
Poliisi y’e Kajjansi yayitiddwa n’egiggyawo nga bwe banoonyereza ekyavuddeko akabenje. Mugoya yatwaliddwa mu ddwaaliro okujjanjabibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Kab1 220x290

Aboolugave baakununula obutaka...

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe