TOP

Laba amaziga g’essanyu.

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2019

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye olw’essanyu

Fari1 703x422

Faridah Ndausi nga akaaba

 

Mikwano gye Faridah nga bakulembeddwamu Jean Nakacwa, Leila Kalanzi Kachapizo n’abalala be bamukoledde akabaga kano akabadde ku Acacia mall e Kamwokya leero emisana.

Okujja ku Acacia bamulimbye nti yeetagibwa mu bwangu bamukube ebifaananyi eby’omulembe (photo shoot) bye bagenda okukozesa okulanga omuzannyo gwabwe omupya kyokka ono asoose kung’aana bwabagambye nti abadde teyeetegese era yeetaga obudde obumala okufuna n’engoye ez’omulembe n’abasaba bakikole olunaku lw’enkya.

 aridah ne mikwano gye nga basala keeki Faridah ne mikwano gye nga basala keeki.
 

Wabula bano balemeddeko ne bamutegezza nga buli kimu bwe kikoleddwako okuli n’engoye z’agenda okwambala ne bamusaba akozesa obwangubwonna bwasobola okubatuukako.

Faridah avuze mmotoka ye kyokka kimuweddeko bwatuuse we bamulagiridde okubasanga ng’alaba mikwano gye ne baludde okulaba batudde bamulindiridde ne keeki okuli amannya ge n’obubaka bw’amazaalibwa.

 aridah nga bamuwa ebyokulya nokunywa Faridah nga bamuwa eby'okulya n'okunywa.

nga yakatuula mu ntebe bamuzannyidde amaloboozi ga munywanyi we Rema Namakula atasobodde kujja (yeetegekera mukolo gwe 'okwanjula) nga amuyozaayoza okutuuka kulunaku luno ekimucamudde era akaabye olw’essanyu eringi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...