TOP

Mukoka asse omukadde

By John Bosco Mulyowa

Added 11th November 2019

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera, omukyala abadde asala oluguudo bwagudde mu mwala ogubadde gutwaaala mukoka ne gamukuluggusa olugendo lwa mayiro nnamba mwafiiridde.

Paska 703x422

Omulambo gwa Nakkazi (mu katono) nga gutwalibwa mu ddwaaliro.

BYA JOHNBOSCO MULYOWA

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South  mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera, omukyala abadde asala oluguudo bwagudde mu mwala ogubadde gutwaaala mukoka ne gamukuluggusa olugendo lwa mayiro nnamba mwafiiridde.

Kino kivudde ku Namutikwa w'enkuba atonnye emisana g'aleero mu kitundu kino era enkuba eno esanze omukyala ono Paskazia Nassali 60,  abadde yakedde mu nnimiro n'abaana be babiri era enkuba bwetonnye naasalawo okuddukira mu nkuba eno atuuke ewaka asobole okulembeka amazzi.

Ageenze okutuuka ku luguudo lwa kkoolasi oluva e Kalisizo okudda e Kyotera asanze mukoka asazeeko oluguudo lwonna era mukugezaako okusala mu mukoka ono amazzi gamusinzizza amaanyi ne gamukuba ekiggwo ne gamukuluggusa okumutuusa mu lusaaalu omulambo gye gusaangiddwa!

 benganda za assali nga baazirana olwokufiirwa omuntu waabwe Ab'enganda za Nassali nga baazirana olw'okufiirwa omuntu waabwe.

 

Abatuuze nga bakulembeddwaamu Ssentebe w'ekyaalo kino Abas Sseruwu batandise omuyiggo ne bazuula omulambo mu lusaalu n ebagusitula okutuuka mu makage ku  , ng'eno poliisi abadde edduumirwa OC Innocent Tusiime  egenze okutuuka gye basaangidde ne baggyako omulambo guno ogubadde gumaze okutuusibwa mu nnyumba ye ne gutwala okusobola okusooka okufuna lipooti yomusawo mu ddwaaaliro e Kalisizo  noluvanyuma guddiziddwa abooluganda okusobola okugutwala okukola ku by'okuziika ku kyaalo Matale okumpi n'e Kaliisizo.

Abantu ab'enjawulo aboogeddeko ne Bukedde  ku kikangabwa kino balaze ennyiike olw'embeera y'emikutu egitaambuza amazzi ku luguudo mwasanjala luno oluva e Masaka okudda e Kyotera ng'emikutu gyazibikira kati mukoka ayita ku kkolaasi ekintu ekyongera okuteeka obulamu bw'abaantu mu matigga nga noono waafiiridde wazze waggwaawo obubenje nga kiva ku mukoka ayanjaalira mu luguudo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...