TOP
  • Home
  • Agawano
  • Eyeeyise owa ISO n’abba emmotoka bamukutte

Eyeeyise owa ISO n’abba emmotoka bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

OMUSAJJA abadde yeeyita owa ISO n’abba mmotoka ku muntu akwatiddwa.

Wangi 703x422

Lumu n’emmotoka gye bamukutte nayo.

Simon Lumu, yakwatiddwa oluvannyuma lw’okubba emmotoka ya buyonjo nnamba UBA 577N, okuva ku Fahad Mayiga, omusuubuzi w’e Kyengera mu Wakiso.

Poliisi egamba nti Lumu, baamulondodde okutuusa lwe baamuguddeko nga yeekukumye okumpi n’omwalo gw’e Katosi, mu disitulikiti y’e Mukono. Oluvannyuma yatwaliddwa ku Poliisi y’e Busega, Mayiga, we yaggula omusango gw’okumubbako mmotoka n’essente, ku fayiro nnamba SD:09/24/01/19.

Ensonda mu ISO, zaategeezezza nti Lumu yali omu ku baasooka okukwatibwa aba ISO, nga bamuteebereza okubaako ne ky’amanyi ku kutemulwa kw’eyali omwogezi w’ekitongole kya poliisi, AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Ono oluvannyuma yateebwa kyokka ng’amaze okufuna emikwano mu kitongole kya ISO, ekimuyambye ennyo okukola ebikolobero nga yeekweka mu kitongole kino.

Kigambibwa nti abadde aliko abaserikale b’akolagana nabo nga bamweyambisa okubawa amawulire ku bamenyi b’amateeka mu bitundu by’e Kyengera, Busega ne Nateete, ekyongedde okumuwa omukisa okusemberera aba ISO, n’atandika n’okweyita omu ku bo.

Mayiga, agamba nti waliwo omuntu eyamuyunga ku Lumu, ng’alina obuzibu n’amutegeeza nti mukozi wa ISO.

Agamba nti yamutuukirira kyokka n’amuggyako mmotoka ye mu lukujjukujju. Bwe yagimusaba ng’amujuliza nti bakamaabe balina emirimu gye baali bagikozesa.

Mayiga agamba nti yamukubiranga essimu nga tagikwata, ekyamuwaliriza ensonga okuzitwala ku poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...