TOP

Owoolubuto eyabula basanze yaziibwa dda!

By Edward Luyimbazi

Added 12th November 2019

OMUKAZI owoolubuto olw’emyezi omusanvu eyava awaka wiiki ssatu eziyise okugenda okunywa eddagala mu ddwaaliro lya KCCA e Kawempe, basanze yafa n’aziikibwa mu limbo e Bukasa.

Yagayo 703x422

Nakidde gwe baasanze nga yafa.

Florence Nakidde 26, omutuuze mu zooni ya Agaati e Luzira mu munisipaali y’e Nakawa ye yafa n’aziikibwa mu limbo e Bukasa oluvannyuma lw’abooluganda lwe okumunoonyeza wiiki ssatu nga talabikako.

Najiwa Namukoma abadde omukozi we awaka yategeezezza nti, Nakidde yava awaka nga October 24, 2019 n’amutegeeza nga bw’agenze mu ddwaaliro lya KCCA e Kawempe okumukebera ku lubuto.

Yagambye nti, baakuba ku ssimu ye nga teriiko oluvannyuma lw’okumulinda nga takomawo era okuva olwo y’abadde alabirira abaana ababiri be yamulekera mu muzigo kw’apangisa.

Ensonga zino baazitegeeza ku b’olukiiko lwa LC 1 olutwala zooni yaabwe era be babadde balabirira awaka nga bwe banoonya Nakidde.

Joseph Nsubuga, atwala ebyokwerinda mu kitundu kino yagambye nti, bwe baafuna amawulire g’okufa kwa Nakidde baamunoonya mu bitundu ebyenjawulo era baatuukirira owabbooda eyamutwala mu ddwaaliro e Kawempe n’abategeeza nga bwe yamutuusa.

Nsubuga yagambye nti bwe baakubira taata wa Nakidde, yabagamba nti ye amanyi nti muwala we akyali mulamu. Baasalawo okugendako mu ddwaaliro e Mulago ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga bakozesa ekifaananyi kye era bwe baatuukaayo kwe kukabatema nti Nakidde yaleetebwa mmotoka ya poliisi ey’e Wakiso nga October 27, 2019 nti era omulambo gwe baagusanga ku kkubo

Kigambibwa nti abasawo e Mulago baalinda abooluganda lwe kyokka ne babula, ne basalawo okumuziika mu limbo e Bukasa nga November 5, 2019.

ABOOLUGANDA LWE BATEEBEREZA NTI YATTIBWA

Godfrey Ssennabulya, mwannyina wa Nakidde yategeezezza nti, babadde baludde okumuwuliza kubanga essimu ye gye baali bamanyi yali yavaako wabula wiiki ewedde ku Lwokutaano, waliwo abaamukubira essimu nga bamutegeeza ku kubula kwa Nakidde.

Ssennabulya yagambye nti nabo baagenda e Mulago ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ne babategeeza nti yafa ne bamuziika.

Yayongeddeko nti baagenda ku poliisi y’e Wakiso ne basisinkana omuserikale gw’amanyiiko erya Otim ng’ono ye yabatwala mu kifo we baasanga omulambo gwa Nakidde.

“Omuserikale yatugamba nti abamu ku bakozi ba ffaamu ya Muyomba e Wakiso be baalaba omulambo,” Ssennabulya bwe yategeezezza. Yagambye nti tamanyi ngeri mwannyina gye yafaamu kubanga omulambo gwe baabategeeza nti gwasangibwa guli bwereere nga gubikkiddwaako kaleesu.

Costa Namawejje, maama wa Nakidde omuto yategeezezza nti basuubira nti muwala waabwe batta mutte kubanga baabuuzizza abasawo ku ddwaaliro ly’e Kawempe gye yali agenze okunywa eddagala ne babategeeza nti yatuukayo ne bamukebera era n’avaayo bulungi.

Oluvannyuma lw’okuzuula omulambo gwa Nakidde, ab’eggwanika ly’e Mulago baagenze e Bukasa gye baali baamuziika ne baguziikulayo n’aziikibwa e Serubona-Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi n’abaana be ne batwalibwa abooluganda lwe nga bwe banoonya kitaabwe kubanga tamanyiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’