TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabalabirizi omuggya amaze okuwandiika ekitabo omuli by'agenda okukola

Ssaabalabirizi omuggya amaze okuwandiika ekitabo omuli by'agenda okukola

By Dickson Kulumba

Added 12th November 2019

Ssaabalabirizi omuggya amaze okuwandiika ekitabo omuli by'agenda okukola

Kaz 703x422

Ssaabalabirizi Kazimba ng'ali n'olukiiko lwe Luweero

SSABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda omulonde, Dr Steven Kazimba Mugalu agambye nti amaliriza okuwandiika ekiwandiiko omuli ebyo byagenda okukola  mu buvunanyizibwa bwe obuggya nga mwe muli okulafubanira Uganda emu,abantu abatya katonda era abakulaakulana.

Okwogera bino yasinzidde ku Luweero Guest House mu kibuga ky’e Luweero ku Mmande akawungeezi bwe yabadde atongozza  olukiiko lw’e Luweero olw’okutegeka emikolo gy’okumusibula ng’ava mu bulabirizi bw’e Mityana n’okutuuza omulabirizi w’e Mityana omuggya ne baweebwa tageti ya kusonda obukadde 100 ku mukolo guno.

“Mu buweereza buno Katonda bweyampitiddemu njagala okulaba Uganda etya Katonda,erimu abantu abalamu, abasomeseddwa n’okukolera awamu awatali kwawula mu nzikiriza n’amawanga gaabwe ate abantu abafunyi era abekulakulanya abatali mu kwe kubagiza,” Dr. Kazimba bwe yategeezezza ng’ensonga yaziwandiikidde ku lugendo lwe yabaddemu ng’ava mu Amerika.

Dr. Kazimba yebazizza abantu b’Obulabirizi bw’e Luwero n’abo abatali ba kanisa ya Uganda olw’okumusabira  ate n’abasanyukirako olw’omwana waabwe Dr. James Bukomeko azaalibwa ku kyalo Kalongo- Kito mu Luweero ng’ono yeyalondeddwa okumuddira mu bigere ng’omulabirizi w’e Mityana omuggya.

Ye Ssentebe w'olukiiko olukulu olutegeka emikolo gino, John Fred Kiyimba Freeman yasabye olukiiko lwe Luweero okusaggula abantu mu kitundu kino okusobola okuweza ensimbi obukadde 100 zigende ku mikolo gino kubanga baagala gitegekebwa ku mutindo gwa waggulu wakati mu kitiibwa.

“Omukolo gw’okutuuza omwana wamwe Bp. Bukomeko gwakubeera abantu 40000 ate twagala Ssabalabirizi tumusiibule mu kitiibwa ng’ava e Mityana n’amaanyi aganamusobozesa okubukkala obulungi mu buvunanyizibwa obuggya bwagenzeemu. N’olwekyo twagala ensimbi ezisukka mu kawumbi kamu n’ekitundu okuva mu bukiiko omwenda obutereddwawo okwetoloola ebintu ebyenjawulo,” Kiyimba bweyagambye nategeza nti enkya ku Lwokusatu (leero) bagenda kutongoza lukiiko lw’e Masaka.

Omulabirizi we Luweero, Bp Eridad Nsubuga yebazizza Katonda olw'okulondebwa kwa Dr. Kazimba ate n'atandika n'enteekateeka eno ey'enkiiko ezinayamba okutumbula enkulakulana mu bulabirizi obw'enjawulo.

Ssentebe w'olukiiko lwe Luweero olwalondeddwa, Mike Kironde yasabye banne okukola obutaweera okufuna ensimbi ezibasaliddwa ng'era okuziweza bakubeera n'ekijjulo nga December 18,2019 n’abawa n’amagezi obutanyoma nsimbi yonna ebaweebwa.

ABALALA ABALI KU LUKIIKO LWE LUWEERO:

Omumyuka wa Ssentebe w’olukiiko ye David Lule Muzzanganda, Omuwanika ye Can. James Kigozi,Omuwandiisi ye Steven Kamya ne bammemba abalala bangi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza