TOP

Poliisi ekunyizza omusumba Mbonye

By Hannington Nkalubo

Added 12th November 2019

Mbonye yeeyanjudde ku kitebe kya bambega e Kibuli Ku Mmande nga yasooka kuyitibwa nga October 21, n’atagendayo era poliisi n’emuwa ekiragiro nti singa alemererwa okweyanjula bagenda kumunoonya yonna gy’ali. Abagoberezi be n’abakulu b’ekkanisa ye be bamu ku baamuwerekeddeko e Kibuli.

Mbonyeweb 703x422

Omusumba Mbonye

BAMBEGA ba poliisi bakunyizza omusumba Elvis Mbonye ow’ekkanisa ya Zoe Fellowship Ministries (ZFM) e Lugogo ku bigambibwa nti yafulumya ekiwandiiko ekitaataaganya kampeyini ya gavumenti ey’okugema abaana.

Mbonye yeeyanjudde ku kitebe kya bambega e Kibuli Ku Mmande nga yasooka kuyitibwa nga October 21, n’atagendayo era poliisi n’emuwa ekiragiro nti singa alemererwa okweyanjula bagenda kumunoonya yonna gy’ali. Abagoberezi be n’abakulu b’ekkanisa ye be bamu ku baamuwerekeddeko e Kibuli.

Baamuvugidde mu mmotoka eza bbeeyi eziriko amannya ge nga yawerekeddwaako ne bboodabooda. Baamubuuzizza ky’amanyi ku kiwandiiko ekyafulumira ku mukutu gwe ogwa ‘Face Book’ nga October 9 ne 10 n’akyegaana n’agamba nti tasimbirangako nteekateeka za Gavumenti ez’okugema abaana ekkuuli.

Yayingidde ne Pulezidenti wa DP, Nobert Mao eyabaddewo nga looya we ate nga mukwano gwe. Omwogezi w’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Charles Twine yategeezezza nti baamuyimbulidde ku kakalu ka poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...