TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekinnya ku ppaaka ya USAFI kitabudde abasaabaze ne baddereeva

Ekinnya ku ppaaka ya USAFI kitabudde abasaabaze ne baddereeva

By Samuel Balagadde

Added 12th November 2019

Ekinnya kigambibwa nti kyavudde ku bigoma ebitambuza amazzi ebyassibwa mu kifo kino okubomoka. Okuva ekinnya kino lwe kyajja mu luguudo obubenje bweyongera mu kifo kino nga n’oluusi emmotoka ezibeera zikyewala zitomera abatambuze.

Kinnyaweb 703x422

Ekinnya mu luguudo wakati.

EKINNYA ekiri wakati mu luguudo lwa Kaguje e Katwe n’akatale ka Usafi kitabudde abasuubuzi n’abavuzi b’ebidduka naddala abattakisi abatandise okukozesa ppaaka eno.

Ekinnya kigambibwa nti kyavudde ku bigoma ebitambuza amazzi ebyassibwa mu kifo kino okubomoka. Okuva ekinnya kino lwe kyajja mu luguudo obubenje bweyongera mu kifo kino nga n’oluusi emmotoka ezibeera zikyewala zitomera abatambuze.

Moses  Mugwerwa omu ku balina edduuka lya sikulaapu mu kitundu kino yagambye nti emmotoka  bwe zigwa mu kinnya kino ziwaba ne zibalumba we bakolera.Yagambye nti bagezezzzako okutuukirira be kikwatako okulaba ng’ekinnya kino bakiziba kyokka tewali kyali kikoleddwa.

Moses Mugerwa nga muvuzi wa ttakisi ku luguudo lw’e Ntebe mu ppaaka ya Usafi  yagambye ekitongole kya KCCA si kyenkanya olw’okuleka ekinnnya kino wakati mu luguudo ng’ate baabalagira okutandika okukozesa ppaaka eno kye bagamba nti kyabulabe ku bbo n’abasaabaze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...