TOP

Enseenene: Omugano gwa November

By Muwanga Kakooza

Added 12th November 2019

AKEETALO akali mu Kampala n’emiraano kati ka nsenene. Enseenene kye kimu ku by’okulya ebisinga okuwoomera Bannayuganda naddala ababeera mu Buganda.

Basezone3 703x422

Bya Musasi waffe

AKEETALO akali mu Kampala n’emiraano kati ka nsenene. Enseenene kye kimu ku by’okulya ebisinga okuwoomera Bannayuganda naddala ababeera mu Buganda.

 

N’abantu abatali Baganda ababeera mu Buganda abaali tebalya nseenene kati baaziyiga era zibawoomera okuzaama.

Enseenene zigwa wakati wa March okutuuka mu June. Olwo ne ziddamu okugwa mu November. Era be bezisinga okuwomera bagamba nti bazinyweera ku bbiya wadde abamu bagamba nti zibawomera banywa mazzi oba ccaayi.

 

alt=''

 

Ensenene zisinga kukwatibwa mu bitundu omuli amataala agaaka ennyo naddala ag’amasanyalaze.Era mu bitundu bino abantu baddira amabaati ne bagawunzikira ku mapipa amanene olwo ensenene olugezaako okubembeera ku mabaati zigwa mu pipa n’abantu beeyolekera kutwala mu butale kutunda. Masaka kye kimu ku bitundu bya Uganda ebisinga okuggwamu ensenene.

 


Abantu bangi bakyewuunya wa ensenene gye ziva.

Era abamu ku bawandiisi b’ebitontome mu Uganda batuuka n’okuziwandikako ekitontome kiramba nga beebuuza wa gye ‘’zizaalibwa’’. Ng’ogyeko e Masaka , kigambibwa nti ebitundu ebirala nga Fort Portal ku nsozi z'e Gahinga, e Hoima era ne ku nsalo ya Uganda ne Rwanda e Kagitumba waggwaayo ensenene.

 

 

 Abasuubuzi nga bakaayanira enseenene ez'okusuubula.

Ensangi zino enseene ate kati ziva Arua ne ku nsalo ya Uganda ne Conogo mu mambuka. 

Okuva eno zireetebwa mu butale e Kampala naddala e Busega, Kyengera n’e Katwe. Era abazitunda bazisasaanya mu bitundu bya Kampala ebitali bimu okwenogera ennusu.

 

 

  Enseenene abamu bazifumba bufumbi ate abalala bazisiika.

E Nateete enseenene basinga kuzifumba ate e Nakasero mu Kampala ezisinga ezitundibwa ziba nsiike wadde n’embisi zitundibwa. Ensenene olumu bazisiikisa butto.

 

 

 

   Omu ku baali abasuubuzi b’ensenene era nga mukulembeze mu katale akamu Vincent Muhoozi agamba nti enseenene zitambula zigoberera mbuyaga. Agamba nti ensonga lwaki zigwa nnyo e Masaka lwa kuba zifuuyibwa embuyaga eva ku nnyanja Nalubaale era bwe zituuka mu Lwera ziba zirengera ebitaala ebyaka olwo ne ziryoka zibyeyuna ne zigwa mu katego k’okuzikwata.

 

 

 


Mu Buganda abakazi tebaalyanga nsenene. Kyokka abakazi baazikwatiranga ba bba baabwe era kyabanga kya muzizo okuzikwata nga ba bba baabwe tebaliiwo.

 

 

 

 

 bakwasi benseenene nga bateze enseenene zaabwe azikwata kiro Abakwasi b'enseenene nga bateze enseenene zaabwe. Bazikwata kiro.

 

Bwe baabanga bakikoze nga waliwo emikolo egisooka okukolebwa. Kigambibwa nti n’e Kabaka olumu nga baziwereza abantu baabwe mu Buganda ng’akabonero akasiima emirimu gye bakola.

Ng’ogyeko abakazi, n'abeddira enseenene tebazirya.

 

 nseenene nga zigudde mu ppipa Enseenene nga zigudde mu ppipa.

 

Ensenene zitundibwa okuva ku 500/- ejjiiko eya ssukaali n’okweyongerayo.

Era ng’ensawo eweza kilo 25 okudda wagulu mu katale ewoozebwako omusolo gwa 2,000/-. Ebirala ebireetera enseenene okulinnya ebbeeyi ge masannyalaze ageeyambisa mu kuzikwata.

 

 nseenene zitikibwa kabindo okutwalibwa mu katale Enseenene zitikibwa kabindo okutwalibwa mu katale.

 

 nseenene nga zivugibwa ku bodaboda Enseenene nga zivugibwa ku bodaboda.

 

 Akatale k'enseenene e Busega.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...