TOP

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

Hit2 703x422

ONO maama w’abaana tanywa guteeka. Akutte omuvubuka w’oku situliiti agambibwa okumubba n’amukuba empi n’okumuyiira caayi. Omukazi ono caayi amufumbira ku kibangirizi kya Ssemateeka ku Kampala Road.

Ggaayi ono eyategeerekeseeko erya Ivan yabadde ne banne nga banoonya gwe basumagiza, omukazi n’amulaba. Yamulinnye akagere n’amuvumbagira n’amukwata amataayi n’okumuyisaamu empi n’oluvannyuma n’amuyiira ekikopo kya caayi gwe yabadde atabulidde kasitooma.

Abantu baalabye omuvubuka atuuyana nga n’omukazi amulemeddeko kwe kumusaba amusonyiwe.

Yagaanyi ng’agamba asooka kuleeta bbinika ye. Yabadde amutwala ku poliisi y’oku CPS ne bamulabula nti naye bayinza okumukwatirayo okutwalira amateeka mu ngalo anti yayiiridde omuvubuka caayi omukalu.

Olwawulidde bino n’amuta era omuvubuka teyazzeemu kutunula mabega n’adduka. Banne baagambye nti ebbinika yagitunda 2,000/- mu sikkulaapu ssente n’aziryamu ekikomando

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Kab1 220x290

Aboolugave baakununula obutaka...

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe

Jit11 220x290

Bawangudde mu mpaka z’okufumba...

Bawangudde mu mpaka z’okufumba eza Bukedde TV