TOP

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

Got2 703x422

HAISHA Mbabazi ne bba Naboth Asiimwe ebyama by’omu maka gaabwe baabyanise mu lujjudde.

Buli omu alangidde munne emize gye. Asiimwe yalumirizza Mbabazi okukwata mu waleti ye n’abbamu 30,000/- n’azinywamu omwenge.

Olutalo lwabaluseewo ne bakubagana era mu kanyoolagano Asiimwe yayokezza Mbabazi omukono.

Mbabazi yeerwanyeeko n’atwala Asiimwe ku poliisi y’oku Kaleerwe n’ategeeza nti kituufu ssente za bba yazibba kyokka ekibonerezo ky’okumwokya omukono kyabadde tekisaana.

Omukazi era yeekangabirizza n’agamba nti okukwata mu waleti ya bba talowooza nti musango era ebyo bba by’asaba poliisi okubaawukanya tajja kubikkiriza. Bano batuuze b’omu Ssebina Zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe. Byabaddewo gye buvuddeko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.