TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema atambula akaada: Abatimbi beetala nga nnamutale..!

Rema atambula akaada: Abatimbi beetala nga nnamutale..!

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

Ebimu ku binaakozesebwa mu kwanjula kwa Rema Namakula bitandise okutuuka awanaabeera omukolo.

Human 703x422

Rema (ku ddyo) alinze lunaku. Ku ddyo, ye ggeeti omunaayita abagenyi.

Abazimba obwaguuga bwa weema omunaabeera emikolo, eggulo baataddewo ebyuma ebinaatuulako ettundubaali wakati mu kwerinda okw’amaanyi.

Abaserikale ba poliisi bassiddwa mu kifo kino mu Bataka Zooni e Nabbingo ku lw’e Masaka.

Okwanjula kwa Rema kwa Lwakuna lwa wiiiki eno mu maka ga Francisco Ssemwanga.

Ono waaluganda lwa Rema. Abakulira enteekateeka z’okwanjula ku ludda lwa Rema, Issa Musoke, Musa Kavuma owa Golden Band ne maneja wa Rema, Ssaalongo Godfrey Kayemba baasimbye mu kifo kino okulabirira omulimu gw’okukiteekateeka.

Abakola ku weema bakira bakola nga n’abalina obuvunaanyizibwa obulala bayingizaawo ebintu.

Mu byasoose okutuusibwa ge mazzi agaabadde ku kabangali agagenda okugabulwa abagenyi.

Leero bamaliriza okussaawo weema, olwo enkya beemalire ku kutimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza