TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Afiiridde mu mulyango nga bamutwala mu ddwaaliro

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala mu ddwaaliro

By Moses Lemisa

Added 12th November 2019

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Ndagamuntuyomugenzi2 703x422

Densinte y'omugenzi Kilobi

Abatuuze  basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako.

 

Kino kiddiridde  ku Lwokubiri abatuuze b’omu Kibe Zooni mu Muluka gwa  Makerere III e Kawempe okugwamu entiisa bwe baasanze munnaabwe ng’ali mu nju ali bubi. Baafunye boodabooda bamutwale mu ddwaaliro e Mulago wabula baabadde baakamufulumya  n’afiira mu mulyango .

Oluvannyuma baazudde densite  ye ng’eraga nti ye Patrick Kilobi enzaalwa y’e Mukono ku kyalo Wabununu mu muluka gw’e Buliika.

Kino kyawalirizza nnannyini mayumba David Musisi Luganga okuloopa ku poliisi y’oku Kaleerwe eyatutte omulambo mu ggwanika e Mulago .

usisi landiroodi ngalaga ndensite yomugenziMusisi landiroodi ng'alaga ndensite y'omugenzi

 

Musisi yategeezezza nti Kilobi abadde yaakamala emyezi ebiri ku nju ze, era ng’abadde muwuulu.

Yagasseeko nti  ku  Ssande omugenzi yamutegeezza nga bw’alinamu ekifuba ne ssenyiga wabula embeera teyabadde mbi, naye ku Lwokubiri yalabye tafuluma kwe kumukeberako n’amusanga ng’ali bubi.

Moses Kibuuka yategeezezza nti  bannannyini mayumba abasinga kasita abapangisa babawa ssente tebafaayo kubasaba bibakwatako. Yagasseeko nti abantu bangi bazze bafiira mu mayumba ne batwalibwa mu ggwanika oluvannyuma ne baziikibwa mu limbo nga tebamanyikiddwaako mayitire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...