TOP

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 12th November 2019

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana waabwe yafuna embeera eno oluvannyuma lw'okugemebwa.

Mwana2jpgweb 703x422

Faith Nyachwo maama wa Elijah Musasizi ng'amusitudde mu ddwaaliro e Kiruddu.

ABAZADDE b’omwana ow’emyaka esatu Elijah Musasizi batabuddwa olw’ekimbe ekitandise okuyubula omwana waabwe olususu. 

Wilson Musasizi kitaawe w’omwana ono omusawo mu ddwaaliro e Bombo agamba nti  mutabani waabwe  okutandika okuyubuka olususu kyatandika mwezi guwedde  nga baakamala okumugemesa olukusense.

Yagambye nti baasooka ne bamutwala e Naggalama  mu ddwaaliro gy’abadde ajjanjabibwa kyokka  embeera  ne yeeyongera okutabuka  olususu lwonna  ne lutandika okuva ku mubiri.

Agamba nti mu ddwaaliro  e Naggalama  abasawo baamwekebejja naye era ekivaako ekizibu kino tebaakifuna.

Olususu lw’omwana ono lwatandika nga lulinga lwe bayiiridde amazzi agookya kyokka kati embeera gy’alimu mbi kuba olususu lwonna lwayubuka. Abasawo kati basazeewo ebiwundu okubisibako bandegi okuziyiza obuwuka okumutuuka ku mubiri.

usasizi  nga bwafaanana mu mugongoMusasizi nga bw'afaanana mu mugongo.

Faith Nyachwo nga ye maama w’omwana nga naye musawo mu ddwaaliro lino, agamba nti, kyamuyitiriddeko kuba tamanyi kituufu kiruma mwana we. 

Abazadde bano  bagamba nti kirabika omubiri gw’omwana waabwe gwagaana okumanyiira eddagala eryamukubwa mu kubagema. 

Mary Awinjo, muganda wa Nyachwo yagambye nti  tewali amanyi kituufu ku kirwadde ekimuluma kubanga  baagemesa abaana basatu kyokka  omu ye yafunye obuzibu buno ng’abalala bonna embeera y’emibiri gyabwe  terina buzibu.

Dr Richard Idro mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okulaba omwana ono, yawakanyizza ebigambibwa nti omwana yandiba nga yakosebwa ddagala lye baabakuba nga babagema  n’ategeeza nti ebbanga  liyisewo ng’okugema kuwedde. 

Yagambye nti omwana yeetaaga kusooka  kwekebejjebwa  bakugu abakwataganya  ebyensusu  okuzuula ekituufu ekimuluma. Wano we yasabidde bazadde bw’omwana ono okubatwala e Kiruddu basobole okuzuula ekiruma omwana waabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...