TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaatemyetemye ssemaka ne banyaga poliisi ebasuuzizza omunyago

Abaatemyetemye ssemaka ne banyaga poliisi ebasuuzizza omunyago

By Vivien Nakitende

Added 13th November 2019

Baamutemyetemye ebiso ne bamusaba ssente zaalina kwe kuzibawa ne mukazi we ne bamuyisaamu ensambaggere olwo ne basiba eby’awaka byonna ne babitwala n'emmotoka y'omugagga.

Sseka 703x422

Ssekabira ng'apooca n'ebisago by'ebijambiya ebyamutemeddwa.

Abazigu b'ebijambiya balumbye ssemaka ne bamutemaatema n'okunyaga eby'omu nju, ssente wamu n'emmotoka.


Bino byabadde ku kyalo Senge mu disitulikiti y'e Wakiso, abazigu beebijambiya bwe baalumbye omugagga Ibrahim Ssekabira ne bamutemaatema n'okumunyaga.
Okuyingira basaze kkufulu n’embwa y’awaka ne bagitta ne bagisuula mu kaabuyonjo, kkamera eziri awaka ne bazikuulayo olwo ne bayingira nga teri kye batya.

Baamutemyetemye ebiso ne bamusaba ssente zaalina kwe kuzibawa ne mukazi we ne bamuyisaamu ensambaggere olwo ne basiba eby’awaka byonna ne babitwala n'emmotoka y'omugagga ekika kya Harrier nnamba UBD 736Q ne baginyaga mwe baatwalidde omunyago.

Wabula bano baakwatiddwa aba LDU ne poliisi y’e Lubaga abaabadde balawuna ekiro ekyakeesezza Ssande nga beekengedde emmotoka eno eyabadde ewenyuka obuweewo ate ng'obudde bwa kiro. Abazigu baalabye babali bubi ne basuulawo emmotoka n’omunyago mu kisenyi okumpi ne Kampala ne badduka.

Emmotoka yasangiddwaamu ebissi omwabadde; ebiso n’ebikozesebwa okumenya kkufulu n’okuggula amayumba ne ttivvi gye babbye mu nnyumba.

Ssekabira eyasangiddwa mu ddwaaliro e Wakiso ng’apooca n'ebiwundu yagambye nti, abazigu baamulumbye ku ssaawa nga  6:00 ogw'ekiro nga kirabika okumulumba baali baamwetegekera kuba baasoose kukuba mbwa ye ne bagisuula mu kaabuyonjo, n'okwasaayasa kkamera zonna ezeetoolodde ennyumba olwo ne balinnya ekikomera nga bakozesa omuguwa, kkufulu ne bazisala ne bayingira.

Agamba baagezezzaako okukuba enduulu naye enkuba yabadde etonnya nnyo nga teri awulira ekyabawadde ekyanya okukola bye baabadde baagala.
Bagguddewo omusango Ku fayiro SD;05/10/11/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...