TOP

Maama afudde n’abaana be

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2019

Maama afudde n’abaana be

Kip2 703x422

Bamasheikh nga basaalira abagenzi.

HASSAN Kato Ssebandeke 45, yakedde e Ngando mu Butambala ku Mmande ng’alina ekigendererwa ky’okusisinkana bakakuyege n’okukima nnyina asobole okumutwala mu ddwaaliro e Kampala ajjanjabwe.

Olunaku lwonna yasiibye asisinkana abantu ab’enjawulo ng’abasaba okumuwagira ku bwakkansala bw’eggombolola y’e Ngando ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Butambala. Bwe yalabye ng’obudde buziba yatandise okusiibula abantu ab’enjawulo era mikwano gye mingi yabagulidde ennyama nga bw’abasuubiza nti, kikyali kituuza kuba bw’anaatuuka mu ntebe kijja kusukka.

Abamu obwedda abawa obupapula okuli ekifaananyi kye ng’abalaga nti waakuvuganya nga talina kibiina era akabonero ke ntebe. Ku ssaawa 1:30 eyaakawungeezi yasimbudde emmotoka ye ekika kya Premio nnamba UAW 272R ng’ataddemu nnyina Nnalaongo Aidah Najjuma 80, ne nnyina omuto Janat Nabakiibi 48, naye abeera ku kyalo.

Baasimbudde zoolekera 2:00 ez’ekiro era abaasigadde awaka ne babaagaliza olugendo olulungi. Nga baakatambulako kkirommita bbiri zokka, emmotoka yamulemeredde ng’aweta ekkoona ne yeesolossa mu lusaalu lwe Muyanga olwawula Butambala ne Mawokota. Abaduukirize baalengedde luvannyuma amataala g’emmotoka agaakira mu mazzi, era baagenze okugituukako ng’abalimu bonna bafu.

Abadduukirize baagambye nti baasanze Kato avudde mu mutto gw’omu maaso ng’agwiridde nnyina emabega bonna mwe baafiiridde. Kato abadde mutuuze w’e Buddo mu Wakiso ng’akolera ku luguudo lwa Nasser mu Kampala gy’abadde akolera ogw’okukuba ebiwandiiko.

Ebiseera ebyasembyeyo abadde okugenda e Butambala ng’aperereza abantu okumulonda ku bwakkansala nga bw’akakasa abantu nga bw’agenda okubalaga omukulembeze bw’alina okubeera. Juma Katamba yagambye nti emmotoka yasimbudde eri ku misinde miyitirivu era asuubira nti kye kyaviiriddeko okumulemerera ng’atuuse mu kkoona.

BONNA BASATU BAZIIKIDDWA WAMU Gyabadde miranga n’okwaziirana ku kyalo Kagolo ekisangibwa mu ggombolola y’e Ngando bwe baabadde baziika Hassan Kato, Nnaalongo Aidah Najjuma ne Janat Nabakiibi ku Lwokubiri.

Okuziika kuno kwetabyemu abantu bangi okwabadde Suprem Mufti, Siliman Kasule Ndirangwa eyasabye abantu okudda eri Allah n’okwongera okunyweza obumu. Yayogedde ku bagenzi ng’ababadde baagala ennyo Obusiraamu abakolagana n’abantu bonna era nga kino kyeyolekedde ku nnamungi w’omuntu eyeetabye mu kuziika. Omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Butambala, Lydia mirembe yasaasidde nnyo affamire eno n’asaba abantu okwerinda okufa ekiseera kyonna kuba kusobola okubatuukako nga tebamanyi.

Abalala abeetabye mu kuziika kwabaddeko omubaka w’e Butambala, Muwanga Kivumbi, Polof. Badru Kateregga, omulamuzi Moses Mukiibi n’abantu abalala bangi.

MUZAATA ATABUKIDDE AISHA KABANDA Sheikh Nuhu Muzaata Batte akulira Daawa era omwogezi w’ekiwayi ky’e Kibuli , yasinzidde mu kuziika n’alumba eyaliko omubaka wa pulezidenti mu Kampala (RCC) Aisha Kabanda olw’okuwalampanga obukulembeze bw’e Kibuli olw’okummanga Sheikh Abdallah Ibrahim Semmambo amyuka Mufti Shaban Mubajje omuzindaalo ku mikolo.

Muzaata yagambye nti Kabanda azze amuwulira ng’alumba ab’e Kibuli olw’okumma Sheikh Semmambo akazindaalo ng’ali ku mikolo ng’agamba nti kibeera kikyamu.

“Omuntu yenna kasita asalawo okukolagana n’abakyamu era abalyazamaanya abeera mukyamu era tusobola kutambula naye okutuusa ng’amenyese n’abavaako”, bwe yagambye.

Aisha Kabanda eyabadde yeegese Muzaata amaaso kyamubuuseeko nga Muzaata amulumiriza nti naye munnanfuusi kuba teyeesigika kuba n’ebbanga ly’amaze mu byobufuzi azze yeekyusakyusa.

Ku bantu abaali bamulumba olw’okuwagira omuyimbi Rema okufumbirwa Dr. Hamza Sebunya yagambye nti, baali tebasobola kumalako naye kuba tasobola kwetondera bayaaye. “Ninze lwa kuba ku mukolo nkwase Hamza omuwala mu butongole nakyo kiggwe.

Abamu mwali munsaasira, kyokka nga nze mmanyi nti, olutalo nja kuluwangula era Insha Allah emikolo gijja kutambula bulungi”, Muzaata bwe yayogedde. Enkola y’abantu okuvvoola abakulembeze yagivumiridde n’awa ekyokulabirako kya katuuni ezizze zirabibwa nga zivvoola omukulembeze w’eggwanga n’asaba kikome mangu.

Suprem Mufti oluvannyuma yakulembeddemu okusaalira abagenzi ng’emiranga gyabuutikidde ekitundu ng’abantu bakaabira abagenzi.

Abamu obwedda bawulirwa nga bakaabira Kato, abalala Balongo ate abandi nga bawoza Nabakiibi ogenze nnyo. Kato yalese bannamwandu babiri n’abaana era abazirakisa baasabiddwa okuyambako mu nkuza y’abamulekwa abaasigadde nga bato nnyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards