TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema

Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2019

Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema

Tip2 703x422

Halima Namakula agamba beetegese bulungi.

HALIMA Namakula omu ku bagambibwa okukuza Rema Namakula naddala ng’ayingira mu kuyimba akomyewo okuva mu Amerika gy’abadde ne yeegatta ku banne mu nteekateeka ezisembayo nga beetegekera omukolo gwa muwala waabwe.

Enkya (Lwakuna) Rema lw’agenda okwanjula mu butongole bba Dr. Hamzah Ssebunya ku mukolo ogw’ebbeeyi ogugenda okubeera e Nabbingo mu Bataka ku luguudo lw’e Masaka.

Ebintu ebisinga ebigenda okukozesebwa byamaze dda okutuuka mu maka g’omw. Francisco Ssemwanga awagenda okubeera omukolo. Weema omugenda okutuula abantu zasimbiddwayo, abakola ogw’okutimba nabo banaatera okumaliriza ate abantu abaapangisibwa okubaako emirimu emirala gye bakola nabo eggulo baasiibye beetala nga babitwalayo.

Abakuumaddembe okuva mu bitongole eby’enjawulo nabo eggulo baagenze mu kifo kino okwongera okwetegereza embeera olw’abagenyi ab’ebitiibwa abasuubirwa okugwetabako.

Halimah eyabadde ayogeza essanyu yagambye buli kimu kiwedde kati balindiridde kwaniriza bako.

Yagasseeko nti “Rema ali mu mbeera nnungi, musanyufu olw’ekkula ly’ayolekedde okutuukako era kati yeesunga kimu kulaba ku Dr. Hamzah enkya ate naffe ng’abazadde twetegese bulungi okwaniriza abako n’abagenyi abalala abajja.

Mu butuufu Rema atwanguyirizza omukolo kubanga kumpi buli kimu y’akyekoleddeko ffe omulimu gwaffe okusinga gubadde mu kuwa magezi era kino kikulaga nti omukolo agwagala era abadde yagwetegekera” Nga bw’eri enkola mu kufumbiza omwana omuwala, ku Mmande Rema yasisinkanye bamaama be abaakoze omukolo kwe baamusibiridde entanda n’okumwagaliza obufumbo obulungi okulaba nga taddamu kugwa mu nsobi ze zimu.

Bano beegasse ku bassenga ne Jjajjaawe Katikkiro eyawummula, Joseph Mulwanyammuli Semwogerere ,abaasooka okumusibirira entanda. Omu ku bamaama ba Rema ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nga bwe baafunye obudde obumala okwogera ne muwala waabwe ssekinnoomu. Abamu obwedda bamubuulirira abalala nga bamuwa bukodyo bw’ayinza okukozesa okunyweza obufumbo ate abalala baamuwadde ebirabo.

Tewali ayinza kunjawula ne Rema. Halima amaze emyezi ebiri mu Amerika yakomyewo ku Lwamukaaga era agamba ensonga esinze okumukomyawo mu budde buno ya mukolo gwa muwala we Rema.

 tenti omunaatuula abagenyi zisimbiddwa Ttenti omunaatuula abagenyi zisimbiddwa.

 “Bingi ebyogeddwa naddala mu kiseera wessibadde abamu nga bagamba nti twatabuka ne Rema ekitali kituufu era ndowooza aboogera boogeza butamanya kubanga nze ne Rema tukwatagana bulungi.

Wessibadde tubadde tuwuliziganya ng’ambuulira ebigenda mu maaso aweetagisa okumuwa amagezi nga nange nkola ogwange. “Omukolo Rema kwe yakyaliza Hamzah ewa Ssenga nze nga maama gwali tegunkwatako y’ensonga lwaki saalabikayo naye guno ogw’okwanjula gunkwatako era y’ensonga lwaki nzize.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza