TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannansi beesiga bakulembeze ba ku byalo okutuusa ebirowoozo byabwe mu boobuyinza

Bannansi beesiga bakulembeze ba ku byalo okutuusa ebirowoozo byabwe mu boobuyinza

By Benjamin Ssebaggala

Added 13th November 2019

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera kubayamba wabula ddembe lyabwe ery’obwebange.

Ta 703x422

Marie Nannyanzi owa Twaweza

Yagambye nti okunoonyereza kwe bakoze kulaga nti abakozi ba gavumenti bangi tebakimanyi nti munnansi ateekwa okumanya ebigenda mu maaso mu ggwanga.

“Ebiteeso kabinenti by’eyisa bannansi bateekwa okubimanya naye okunoonyereza kuzudde nti olumu abantu bennyini tebayayaanira kumanya olumu ne balemesebwa” Polof. Kizza bwe yaggumizza.

Yasinzidde ku Hotel Africana nga Twaweza Uganda batongoza lipooti ku kunoonyereza kwe bakoze ku ngeri bannansi gye baweebwamu amawulire agafa mu gavumenti oba okutuusa ensonga zaabwe eri aboobuyinza.

Okunoonyereza kwakoleddwa mu bantu 1,872 okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Kwatandika mu December 2018 okutuuka March 2019.

Marie Nannyanzi owa Twaweza yategeezezza nti bagenda mu bitundu eby’enjawulo ne balondayo amaka. Babawa essimu ey’omungalo n’okubateekerayo soola okusobola okubeera nga bawuliziganya.

Okunoonyereza okulala kwakoleddwa mu bakozi ba gavumenti 62 okuva mu disitulikiti 4 okuli Buikwe, Kamuli, Hoima ne Kole. Wano Twaweza yakwatagana ne Makerere University era Polof. Kizza weyajjidde.

Bye bazudde biraga nti ku buli bantu bana 4, abasatu basing kwagala kutikka bakulembeze babawe ab’okukyalo okutuusa ebirowoozo byabwe eri aboobuyinza, bano bakola ebitundu 73 ku 100.

Abalala ebitundu 43 ku 100 baagala kubiyisa mu bakulembeze ba gavumenti z’ebitundu ate 33 ku buli 100 baagala kukozesa nkiiko za bibuga ebibatwala okutuusa eddoboozi lyabwe.

 

Buli bantu 5 osangako babiri abeetaba mu nkiiko z’ebyalo era babuuza ebibuuzo oba okutusaayo ensonga ez’enjawulo ezibakwatako mu kitundu. Enkiiko zino mwe bafunira okumisa okuwuliza ebifa mu gavumenti n’okwogerako n’abakungu ba gavumenti.

Abantu basing kwesiga bakulembeze baabwe ku gavumenti z’ebitundu okukola ku nsonga zabwe okusinga abali ku mutendera gw’eggwanga nga Baminsita oba ababaka ba palamenti. Abantu 58 ku 100 bagamba bakisanga kyangu okusisinka abakulembeze ku mutendera gwa waggulu.

Nannyanzi yategeezezza nti okunoonyereza kulaga nti bannansi bangi si bamativu kunaga tebaweebwa mukisa kuwa birowoozo ku kuteekerateekera eggwanga n’okukola embalirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu