TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2019

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Kib2 703x422

Nyanzi ng’ateeka emmwaanyi mu kyuma ekizikamulamu butto bwe yabadde mu musomo gwa Sundowner.

ABAABADDE mu musomo gwaffe ogwa ‘The Great Sundowner’ mwakirabye bulungi nti, emmwaanyi osobola okukamulamu butto. Era hhenda nnyongera okukulambululira biki ebyaliyo naawe oyongere okwefumiitiriza oba oli awo olibaako ky’otandika ne weefuniramu ensimbi.

Kino okukikola kyangu, kubanga oginoga nga mbisi n’ogyanika n’etuuka ku bitundu 10 ku 100 eby’amazzi olwo n’olyoka ogiteeka mu kyuma ekigikamulamu butto. Ekyuma ekikamulamu butto kitandikira ku bukadde butaano, waliwo eky’obukadde 15 nga kino ekirungi ekikiriko kisobola okweggyirako akakuta n’oluvannyuma ne kikamula so ng’ekigula obukadde obutaano ggwe asooka okukiggyirako akakuta.

Ssinga okamula emmwaanyi, kkiro 100 zivaamu liita 20 eza butto ate buli liita tugigula emitwalo 20, ekitegeeza nti kkiro 100 ozifunamu obukadde buna. Jjukira nti, Abazungu emmwaanyi bazeetaaga naddala mu biseera nga bino eby’obutiti anti zirimu ekirungo kya ‘Caffeine’ ekibayamba okutambuza omusaayi ne bayita bulungi mu butiti.

EMIGASO GYA BUTTO W’EMMWAANYI

1Aleeta mangu ssente kubanga ogenda kuzinoga mangu ate oleme kutunda kibooko akuseeza.

2 Eri abantu abalina ebirowoozo, acamula obwongo n’okuyamba omusaayi okutambula n’otobeera munyiikaavu kuba olumu buvaako omuntu okwetuga.

3 Ku baana abasoma, abayamba okubeera n’obwongo obwogi ne Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde

4 bw'ozikamulamu butto basobola okutegeera bye basoma.

4 Olw’okubeera n’ekirungo kya ‘Cafestol’, ayamba omusaayi okutambula omubiri ne gutakola butwa bwa ‘Lactic acid’ obuleetera omuntu okukoowa amangu n’ebinywa okwesiba. Bannabyamizannyo omuli abaddusi abakolera kubanga abawa amaanyi.

5 Ku bakyala abatatereeza nnaku zaabwe mu nsonga, nga ku mulundi guno gutereera ate oguddako ne gutatereera asobola okutereeza ennaku zaabwe.

6 Olw’okutambuza obulungi omusaayi, kireetera omuntu okufuna obulungi empewo ennungi n’abeera ng’assa bulungi n’atatawaanyizibwa asima. N’abamulina abayamba.

7 Abakyala abaagala okwerungiya, oddira akajiiko ka sukaali n’ogattamu amatondo 10 aga butto w’emmwaanyi n’okola ‘Coffee Scrub’ azigula olususu.

8 Alimu ekirungo kya ‘Anti oxidants’ ekiyamba okwoza ekibumba naddala abo abanywa omwenge. Era ayoza n’ensigo.

9 Ayamba okutambuza ‘insulin’ mu mubiri ekirungo ekiyamba okutereeza sukaali mu mubiri.

10 Ayamba abantu abalina ebivuuma mu matu, bano baba bafunye obulwadde bwa ‘Vertigo’ obucankalanya puleesa y’amatu.

11 Ate ayamba n’abafuna kammunguluze naddala ggwe alina puleesa eya wansi.

12 Osobola okumukozesa okweyoza mu kyenda ekiyamba okuziyiza kookolo, okwesiba kw’olubuto, emmeeme eya wansi.

13 Ayamba okuteeka akawoowo mu mubisi gw’enjuki, n’ofuna ‘Coffee honey’ ow’ettunzi ku katale k’ensi yonna.

14 Tusobola okumukozesa ng’ekyokunywa ku caayi ate n’okuzzaamu amaanyi naddala abo abakola ne bakoowa.

15 Asumulula obutoffaali obuleeta amazzi abakyala ne bayambibwa obutabeera bannabukalu.

16 Olw’okutambuza obulungi omusaayi, ayamba abaami abanafu okwezza obuggya ne baddamu embavu nga bafuna amaanyi g’ekisajja. Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...