TOP

Ddereeva wa ambyulensi eyasse omuntu akwatiddwa

By Joseph Makumbi

Added 16th November 2019

DDEREEVA w’emmotoka y’eddwaaliro lya Case Hospital eyatomedde omuntu ku Kitgum House poliisi emukutte ne ambyulensi gye yabadde avuga n’atwalibwa ku CPS.

Case 703x422

Mmotoka ya Case Hospital eyatomedde Musa n’emutta ng’eri ku poliisi ya CPS mu Kampala. Mu katono ye Patrick Kintu akulira Case Hospital.

Kigambibwa nti ku Mmande nga November 11, 2019, wakati w’essaawa 11 n’ekitundu ne 12 ez’oku makya, Richard Sserwadda 50 ddereeva wa ambyulensi ya Case Hospital yatomera agenti wa kkampuni z’amawulire, Majid Musa eyali asala ekkubo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti, Sserwadda baamukutte abayambeko mu kunoonyereza ku musango gw’okuvugisa ekimama n’okutomera omuntu n’amutta.

Yagasseeko nti, ne ambyulensi nnamba UBA 272G ey’eddwaaliro lino baagikutte okubayambako mu kunoonyereza. Yayongeddeko nti, Sserwadda bwe baamukutte, yabagambye nti, yalina omulwadde mu ambyulensi ng’assiza ku byuma omusawo gwe yali naye mu mmotoka n’amulagira avuge atuuse omulwadde mu ddwaaliro balyoke balabe ekiddako.

Akulira eddwaaliro lya Case Hospital, Patrick Kintu yategeezezza bannamawulire nti, kituufu mmotoka yaabwe yatomera Musa oluvannyuma lw’okwabika omupiira nti kyokka, ddereeva teyasooka kukitegeera nti alina omuntu gwe yali atomedde.

Yagasseeko nti, okukitegeera nti mmotoka yaabwe yabadde erina omuntu gw’etomedde, baakitegedde poliisi emaze kugenda ku ddwaaliro ng’enoonyereza.

“Twakolaganye ne poliisi ddereeva waffe ne tumuwaayo eri poliisi era be bakyamulina. Twawadde poliisi obudde ekole okunoonyereza bwe kinaazuulwa nti waliwo obulagajjavu omusango gutwalibwe mu kkooti.” Kintu bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, bakungubagira wamu ne ffamire ya Musa eyafiiridde mu kabenje kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.