TOP

Engeri Rema gy’annyogozza Kenzo

By Benjamin Ssebaggala

Added 16th November 2019

OKWOGERA kwa Rema Namakula mu kwanjula kwongedde okunnyogoza abawagizi ba Kenzo. Ng’oggyeeko okusuuta Hamza Ssebunnya mu ngeri “ejanjawaza”, Rema Namakula bwe yakutte akazindaalo okwebaza abantu n’agamba nti: Buli mukazi ky’ayaayaanira mu bulamu kwe kubeera n’omusajja gw’ayita omwami nga bya ddala!

7541207435164745350369644383121267822166016o 703x422

Abawagizi ba Rema abaabadde mu kwanjula, awo we baakubidde obuluulu obusoomooza “Ttiimu Kenzo” era abakazi abamu ne bayisaamu amaloboozi nti, “Kyekyo..” nga bwe bagattako nti, “Twakoowa Bussemyekozo…”

Rema yakyukidde abawagizi be naye be yayogeddeko nga “Ttiimu Rema” n’abeebaaza okumubeererawo ne bba Hamza Sebunnya wakati mu kusoomoozebwa kwe bayiseemu okutuuka ku mukolo gw’okwanjula ogwabadde ogw’ekitiibwa.

Rema yakyusizza amaaso n’agazza ewa Sebunya n’amwebaza nti: Weebala kunjagala, weebale kunkolera mukolo guno; ompeesezza ekitiibwa nange nja kukwagala.

Ebyo olwabimazeeyo, Rema n’alyokka akyuka n’atunula awaabadde Sheikh Nuhu Muzaata n’amugamba nti: Sheikh weebale byonna, bakukubye emisumaali ku lwaffe ne bakukuba ‘bbomu’ naye obadde “Bullet Proof yaffe!”

Muzaata yabadde yamaze dda okwogera n’ategeeza abantu nti: Mwenna abalenzi n’abawala mukimanye nti omuwala bamuwasa bwe bati. Omusajja akuzaddemu abaana ne bwe babeera balongo nga tagenze mu bazadde, asigala mukwano gwo.

Muzaata yabadde ng’akkaatiriza bye yasooka okwogerera mu kulyala okwali e Naggulu nga October 9, 2019 lwe yakulisa Rema okuwona bwe yayita bu “Laavu nniga” era “Bussemyekozo” bwe yagamba nti tebuwasa bubeera mu “nkya kwetegereza”.

Muzaata yawunzise akunga abasajja nti buli we balaba omuntu alina omukazi mu mbeera eyo ey’okuzaala abaana naye nga tebatongoza bufumbo, nti bagende bamuggyeyo bamuwase.

Yasabye Nnaabagereka ategekeyo Ekisaakaate ky’abaana abawala n’abalenzi abamaze okusoma kubanga bangi balowooza nti olumaliriza okusoma balina kunoonya mirimu eky’okufumbirwa oba okuwasa tebakiraba nga nsonga nkulu.

Rema yagenze okwogera bino ng’amaze okukyusa olugoye omulundi ogwokutaano n’ajjira mu lugoye olwabaddeko ebimyamyansa obwedda abantu bye boogerako ng’amasannyalaze. Sebunnya naye yakyusizza n’ayambala ekyambalo ekitambulira ku lugoye lwa Rema.

Rema yagenze asoma abantu ssekinnoomu abalina bye bakoze okuyimirizaawo omukolo, nga bw’abeebaza n’okubawa ebirabo.

Obudde bwabadde bugenderedde kubanga omukolo ogwabadde ogw’okuggwa ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi, gwazibizza obudde era abako baagenze okusiibula ng’essaawa ziri 4:20 ez’ekiro ky’Olwokuna. Abategesi, kino baakitadde ku nkuba eyabataataaganyizza, kyokka ne bagattako nti baagitunuulidde ng’akabonero ak’omukisa eri obufumbo bwa Rema ne Sebunnya.

Omukolo gwabadde gutambudde nga gutuuse kumpi ku kitundu ekisembayo ssentebe wa Bagagga Bakwagalana, Godfrey Kirumira we yayogeredde n’ayanjula be yazze nabo okuwerekera Sebunya. Yagambye nti kino ekyakoleddwa bakiraba ng’ekisumuluzo mu bulamu bwa Rema.

“Rema tagenda kuddayo kwejjusa era tagenda kuddayo kulaba nnaku okutuusa Katonda lw’alimuggya mu nsi”, Kirumira bwe yaweze mu maaso g’abaabadde ku mukolo ng’eno bw’ayanjula aba Kwagalana era n’ategeeza nti awo we baabadde yabadde ntandikwa ya kusanyuka olwavuddewo ne bagenda mu maka ga Freeman e Lungujja basanyuke.

Rema yeebazizza nnyo aba Kwagalana nti bakoze kinene okuyimirizaawo omukolo gwabwe n’ekisingira ddala okubaagala. Kirumira mu kusooka yategeeza nti omukolo baagukolera embalirira ya bukadde 500 era ne bazikuhhaanya ne ziwera.

Rema yeebazizza bonna abazze bamulabirira mu bulamu bwe okutuuka lw’akuze okuviira ddala ku masomero gy’ayise n’agamba nti ye akuziddwa “mawanga magatte” era yeemanyi nti mwana wa nsi kubanga bangi abazze bamuyamba okuli ne Bafaaza abaamuyambako okufuna ebisale by’essomero.

Abasawo abakola ne Sebunya baamugambye nti, kaafunye Rema bazaale abaana eby’okubalabirira babibalekere. Dr. Sabrina Kitaka ye yakulembedde abasawo bano ne baleetera Hamza ekirabo kye baagambye nti musawo munnaabwe ye yakisiize. Hamza naye yasuubizza okwagala Rema n’agattako nti teri kigenda kubaawukanya obulamu bwabwe bwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza