TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana owa P3 akubye muto munne ebikonde n'amutta

Omwana owa P3 akubye muto munne ebikonde n'amutta

By John Bosco Mulyowa

Added 16th November 2019

OMWANA owa P3 alwanye ne munne n’amukuba ekikonde ekigambibwa nti kye kyamuviiriddeko okufa.

Muganda 703x422

Eria Kirigoolaani taata w’omugenzi ( ku kkono) nga bamukubagiza.

Eyakubye munne wa myaka 12 nga babadde basomera mu Lukolo Junior School e Budondo mu Jinja. Sowedi Mugulusi eyattiddwa babadde basoma bonna mu P3.

Kigambibwa nti omusomesa yagaanyi abayizi okufuluma mu kibiina kyokka omu ku bayizi n’agaana okugondera amateeka n’agezaako okufuluma.

Wano Mugulusi we yamukwattidde ng’amutangira okufuluma era wanno we yamukubidde ekikonde mu kifuba n’agwa ku ttaka.

Yayongedde okumuggunda ebikonde era wano bannaabwe bwe bajjidde okumutaasa.

Baayanguye okutegeeza abasomesa abaatuuse ne bamuggyawo ne bamutwala mu ofiisi okumuwa obujjanjabi obusookerwako.

Kyokka bwe baalabye ng’embeera si nnungi kwe kumuddusa mu ddwaaliro gye baazuulidde nti yabadde afudde.

Wabula abasomesa bagamba nti baamututte butereevu mu ddwaaliro kyokka eby’embi n’afa.

Taata w’omugenzi Eriasa Kirigoolaani yagambye nti abasomesa bwe baamukubidde essimu baamutegeezezza nga mutabani we bwe yabadde azirise.

Yafunye bboodabooda eyamuddusizza ku ddwaaliro lya Lukolo Health Centre II gye yabadde.

Baamuggyeeyo ne bamutwala mu kalwaliro k’obwannannyini aka Mutai Health Clinic kyokka eby’embi baagenze okumutuusaayo ng’amaze okufa.

Poliisi y’e Mutai yagenze ku ssomero n’eggyawo omuyizi agambibwa okukuba munne ebikonde ebyamuviiridde okufa.

Poliisi yannyonnyodde nti wadde amateeka tegabakkiriza kukwata mwana omuto baabadde balina okumuggya mu bantu abaabadde basobola okumutuusaako obulabe.

Diana Nandawula, omwogezi wa poliisi mu kitundu ky’e Kiira yagambye nti omwana ono ne banne poliisi yabaggyeeko siteetimenti.

TAATA ASONYIYE EYASSE

Taata w’omugenzi Erias Kirigoolaani eyabadde mu kiyongobero yategeezezza abakungubazi nga bwe yasonyiye omuyizi eyasse omwana we.

Wabula Nandawula yagambye nti polisi yaakugenda mu maaso n’okunoonyereza kubanga omusango ogwakoleddwa gwa butemu.

Poliisi yagezezzaako okutwala omulambo okugwekebejja taata w’omugenzi n’agaana nti ebinaavamu byabadde tebigenda kuzza bulamu bwa mwana we.

“Allah bwatyo bw’ageze era nze sigenda kubaloopa ku polisi kubanga tewali kye hhenda kuzza era omwana ne bazadde be mbasonyiye,” bwe yategeezezza.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

OMWANA owa P3 alwanye ne
munne n’amukuba ekikonde
ekigambibwa nti kye kyamuviiriddeko
okufa.
Eyakubye munne wa myaka 12
nga babadde basomera mu Lukolo
Junior School e Budondo mu Jinja.
Sowedi Mugulusi eyattiddwa
babadde basoma bonna mu P3.
Kigambibwa nti omusomesa
yagaanyi abayizi okufuluma mu
kibiina kyokka omu ku bayizi
n’agaana okugondera amateeka
n’agezaako okufuluma.
Wano Mugulusi we yamukwattidde
ng’amutangira okufuluma
era wanno we yamukubidde
ekikonde mu kifuba n’agwa ku
ttaka.
Yayongedde okumuggunda
ebikonde era wano bannaabwe
bwe bajjidde okumutaasa.
Baayanguye okutegeeza
abasomesa abaatuuse ne bamuggyawo
ne bamutwala mu ofiisi
okumuwa obujjanjabi obusookerwako.
Kyokka bwe baalabye
ng’embeera si nnungi kwe kumuddusa
mu ddwaaliro gye baazuulidde
nti yabadde afudde.
Wabula abasomesa bagamba nti
baamututte butereevu mu ddwaaliro
kyokka eby’embi n’afa.
Taata w’omugenzi Eriasa Kirigoolaani
yagambye nti abasomesa
bwe baamukubidde essimu
baamutegeezezza nga mutabani
we bwe yabadde azirise. Yafunye
bboodabooda eyamuddusizza
ku ddwaaliro lya Lukolo Health
Centre II gye yabadde.
Baamuggyeeyo ne bamutwala
mu kalwaliro k’obwannannyini
aka Mutai Health Clinic kyokka
eby’embi baagenze okumutuusaayo
ng’amaze okufa.
Poliisi y’e Mutai yagenze ku
ssomero n’eggyawo omuyizi agambibwa
okukuba munne ebikonde
ebyamuviiridde okufa.
Poliisi yannyonnyodde nti wadde
amateeka tegabakkiriza kukwata
mwana omuto baabadde balina
okumuggya mu bantu abaabadde
basobola okumutuusaako obulabe.
Diana Nandawula, omwogezi wa
poliisi mu kitundu ky’e Kiira yagambye
nti omwana ono ne banne
poliisi yabaggyeeko siteetimenti.
TAATA ASONYIYE EYASSE
Taata w’omugenzi Erias Kirigoolaani
eyabadde mu kiyongobero
yategeezezza abakungubazi nga
bwe yasonyiye omuyizi eyasse
omwana we.
Wabula Nandawula yagambye
nti polisi yaakugenda mu maaso
n’okunoonyereza kubanga omusango
ogwakoleddwa gwa butemu.
Poliisi yagezezzaako okutwala
omulambo okugwekebejja taata
w’omugenzi n’agaana nti ebinaavamu
byabadde tebigenda kuzza
bulamu bwa mwana we.
“Allah bwatyo bw’ageze era
nze sigenda kubaloopa ku polisi
kubanga tewali kye hhenda kuzza
era omwana ne bazadde be mbasonyiye,”
bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko