TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa okumutwalako ettaka

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa okumutwalako ettaka

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2019

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60. Ettaka kigambibwa baaliguzizza omugagga Bosco Muwonge.

Jino 703x422

Ekifo bakanyama b’omugagga Bosco Muwonge we baasenze. Ku ddyo, Omukadde Mary Luswata.

Mary Luswata abeera mu Muzaana Zooni mu Kisenyi agamba nti ettaka kwe bamugoba lyali lya bba Rev. Daniel Ssepiriya Luswata Kayizzi eyali mutabani wa Ssekabaka Daudi Chwa.

Alumiriza nti ettaka lino lyali lya bba eyali asumba ekkanisa ya St. James esangibwa ku ttaka lino.

Litudde ku bugazi bwa yiika emu ne deesimoolo 95 nga libaddeko abantu abakolerako abasoba mu 300.

“Nsaba Obwakabaka bwa Buganda buveeyo bunnyambe kuba ennyumba z’abapangisa mwe mbadde nzigya ssente ezindabirira zaamenyeddwa, ate ng’ettaka lino zaali ntuuyo za baze.” Muky. Luswata bwe yasabye.

Yayongeddeko nti azze awagira emirimu gy’ekkanisa nga yabawaako n’ettaka e Kawaala kwe baazimba ekkanisa ya St. Peters.

Deborah Nawatti, omu ku booluganda lwa Luswata yategeezezza nti ettaka lino lyasooka kubeera lya Bazungu abaalikwasa Rev. Kayizzi mu myaka gya 1950 eyakkiriza okugabirako ekkanisa oluvannyuma.

Beewuunya abantu be baasenza ate okwefuula ne bagoba nnannyini.

Gye buvuddeko Obulabirizi bwe Namirembe ettaka lino bwalikwasa omugagga Bosco Muwonge alikulaakulanye.

Kyokka kino aba famire bazze bakiwakanya nga bagamba nti balina kusooka kukkaanya kuba balinawo obwannannyini.

Kyokka baalabidde awo nga bakanyama babalumbye ne batandika okumenya amayumba gonna nga tebamaze wadde okubawa okulabula kwonna.

Nawatti agamba nti kyabeewuunyisizza nnyo kuba Omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira yabadde amaze okubategeeza nga bwajja okubasisinkana ku Lwokubiri lwa wiiki ejja.

Aba famire ya Kayizzi baagumbye ku Lutikko e Namirembe nga baagala okusisinkana omulabirizi Luwalira, kyokka abaserikale ba LDU ne babagobawo era ne bagenda nga batolotooma.

Godfrey Makhonje omusumba w’ekkanisa ya St. James yategeezezza nti ebyayogeddwa aba famire ya Kayizzi nti baamenye ennyumba ne bakasuka ebintu by’abapangisa awatali kuliyirirwa bya bulimba kuba abantu bonna ababadde ku ttaka baasasuddwa ne bavaako mu ddembe.

Yagambye nti ekifo kino kimaze emyaka nga kifaanana bubi olw’ebizimbe ebibadde mu mbeera embi.

Ng’ekkanisa yawalirizibwa okutuukirira KCCA ne bagisaba babafunire omuntu asobola okukulaakaulanya ettaka lino.

Mu kiseera kino omugagga Muwonge we yajjira ne basalawo okumuwa ettaka okulikulaakulanya era abantu bonna abasoba mu 300 baasasuddwa bulungi.

Kyokka obuzibu baabusanze mu famire ya Rev. Kayizzi ababadde bagamba nti ettaka lyabwe wadde nga tebalinaawo buwandiike bwonna bukikakasa.

Godfrey Kabunga amyuka ssentebe wa zooni ya Muzaana yategeezezza nti abasenze ababadde ku ttaka lino abalala baavuddewo mu ddembe. Ky’amanyi nti famire ya Kayizzi yali yasengako kuba omugenzi yali musumba w’ekkanisa eri ku ttaka lino.

Ettaka erikaayanirwa mu kiseera kino likuumibwa baserikale ba LDU n’amagye era tewali muntu akkirizibwa kusaalimbirako.

Akulira ekitongole ky’ebyettaka e Namirembe, Rev. Steven Mpoza yagambye nti buli yasenguddwa ku ttaka yasasulwa wabula Bukedde bwe yabadde egezaako okumubuuza ebibuuzo ebirala n’ategeeza nti ali mu luwummula mu kiseera kino.

Enkaayana ku ttaka lino zirudde nga zaaviirako n’okusiba Omubuulizi w’ekkanisa eno, Godfrey Mahony mu kkomera e Wakiso. Abantu abaasenguddwa kwabaddeko abatunzi b’ebyuma ebikadde, abaweesi, abatunzi b’emmere n’ebyuma by’obuwunga bya kasooli.

EKKANISA YAAKUMENYEBWA

Rev. Makhonje yakubirizza abagoberezi okutwala ekyokulabirako ky’obugumiikiriza ekkanisa bw’ekozesezza ku nkwata y’ensonga z’ettako lino.

Entegeeragana eyatuukiddwako n’omugagga Muwonge ekkanisa ebaddewo egenda kumenyebwa bazimbewo empya ennene egenda okubeera eya kalina.

Okumenya ekkanisa kusuubirwa amangu ddala nga bamaze okutegekera abasabi we banaasabira.

Yagumizza Abakulisitaayo nti eky’okumenya tekijja kutaataaganya mirimu gya Katonda.

Ekimu ku bizimbe ebyalekeddwaawo kuliko eky’essomero lya Muteesa II Royal Primary School mwe bagenda okusigala nga basabira.

Ate Jane Male akulira abakazi Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’e Namirembe era ow’ebyenkulaakulana mu kkanisa ya St. James yalaze essanyu olw’amazima ku ttaka lino okuzuulwa ate enkaayana ne ziggwa nga tezivuddeemu kuyiwa musaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.